OCTOBER mwezi gwa kumanyisa bantu ku bikwata ku kookolo w’amabeere n’okujjukira abo abafudde olw’obulwadde buno. Kookolo w’amabeere akwata abakazi n’abasajja wadde bo omuwendo gwabwe mutono.
Ekirungi nti kookolo asobola okuwona singa omwanguyira okumujjanjaba. Josephine Bamuwamye, 61, ow’e Gyanda - Namugongo y’omu ku baawoona kookolo w’amabeere era attottola bwe yakizuula, bye yayitamune waali kati.
“Nze Josephine Bamuwamye, nnina abaana bataano. Mu 2000, nawulira akazimba mu bbeere erya kkono, mu kiseera kino nnali mbeera Kenya. Nagenda mu kalwaliro okwebuuza ku musawo eyampaandiikira ebbaluwa entwala mu Kenyata Hospital.
Bwe natuukayo, banzigyako amazzi ku bbeere awaali akazimba ne baggyamu amazzi matono ne bandagira okuddayo oluvannyuma lw’omwezi gumu.
Mu kuddayo bang’amba nti nnalina kookolo w’amabeere nga nnalina okulongoosebwa. Mu April 2000, bannongoosa ebbeere, kyokka oluvannuma baalisalako ng’asaasaana. Nakozesa eddagala ery’enjawulo ne bigaana.
Bwe nawona ekiwundu, ne ntandika eddagala lye bayisa mu misuwa (Chemotherapy) eryanzirugaza n’okunkuunyuula enviiri. Nalifuna emirundi mukaaga buli luvannyuma lwa wiiki ssatu nga balinkuba.
Ekyaddako kwalikunkalirira mu kyuma (Radiotherapy), okumala wiiki ssatu. Oluvannyuma banzigyamu nnabaana, kuba omusawo yakiraba nga nnyinza okufuna obuzibu obulala.
Giweze emyaka 11 sirina buzibu bwonna, ng’enda ne bankebera, naye sirina kookolo ate sikyalina ddagala lyonna ly’enkozesa. Era kati nneegatta ku kibiina kya Uganda Women’s Cancer Support Organisation okusobola okusaasaanya enjiri ku kookolo w’amabeere.