breaking news
Tambulan’o
Obudde bwe mmala mu ndabirwamu sibumanyi
  • Oct 14, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Sagala nga yeekolako.

LEERO tukuleetedde Grace Ssemwogerere abangi gwe bamanyi nga ‘Sagala’ olw’oluyimba lwe olwo. Muyimbi mu Eagles Production. PHILLIP KAGGWA yamutuukiridde n’amubuulira ebimukuumira ku mulembe;

Katonda yantonda bulungi kubanga yampa olususu olulungi, ffiga ngirina ate nange nfuba okulaba nga nneekolako nneme kulabika nga nsiiwuuse.

Ebbanga lye mmala mu ndabirwamu sirimanyi. Era bwe mba waakutambula, nfuba okulaba nga ng’enda okufuluma ekisenge nga njaka nneme kusuula bubonero.

Njagala nnyo engoye ezinkwata omubiri ne ziggyayo ffiga yange. Nsinga kwambala obuteeteeyi obumpi olwo ne nteekako engatto ez’akakondo akawanvu ne zimpa entambula.

Eky’okwagala ebiteeteeyi tekitegeeza nti sirina ngoye ndala. Mu woduloopu yange mulimu empale, sikaati, jjiini, gomesi n’ebirala wabula buli lugoye ndwambala okusinziira ku kifo gye mbeera ndaga.

‘AMAGULU GANGE GANNEEYAGAZA’

Ekimu ku bintu ebisinga okunneeyagaza y’endabika y’amagulu gange. Nnina entumbwe ekuba buli antunulako ky’ova olaba nga nnyambala nnyo mmini nsobole okugikuba abalabi.

Kibeera kizibu okwambala ekyambalo ne sinyuma kuba ffiga yange yakula bulungi era ngyekakasa kumpi buli kyengezaako kibeera kinkolera. Si kirungi kumanya ekirungi ekikuliko ate n’okikweka munda.

Engoye nzigula wakati wa emitwalo 8 ne 30. Atre engatto nnyamba za 100,000/- okudda waggulu.
Njagala nnyo langi eya bbulu n’enzirugavu kuba bang’amba nti zigendera bulungi ku ndabika y’olususu lwange.

Nkozesa nnyo ebibala

YADDE Katonda yantonda n’olususu olulungi, naye lwetaaga okulabirira luleme kukulubuka. Okulukuuma nga luweweevu ate nga tekuli bikuyiro, nfuba okulaba nga ndya ebibala n’okunywa amazzi buli kadde.

Kino kinyamba okukuuma omubiri ggwange nga tegusiiwuuse oba okukala. Buli lunaku ndya ekibala naye nsinga kwagala ffene n’amenvu.

Ffeesi yange kye kimu ku bintu bye nsinga okufaako kuba y’endabirwamu yange eri abawagizi bange. Okugikuuma ng’eyaka, seerabira pawuda, lipusitiiki, ekkalaamu n’ebirala.

Waliwo abeebuuza lwaki sigejja ng’abawala oba abakazi abalala, naye nze ffiga eyange okugikuuma bweti, nkola ne ku dduyiro.

Enviiri nazo nfuba okulaba nga nzifaako n’okuzikola mu ngeri ey’enjawulo. Nsinga kwettanira kusiba ‘buviiri’ kuba bunnyanguyira okukola sitayiro gye njagadde.
 

  • Oct 14, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola