
Dorah Namaala ng’anyumye mu kiteeteeyi
Abakyala abamu bwe bafuna embuto ng’ebyokwebyula n’okwambala obulungi abivaako. Waliwo abakikola mu bugenderevu nga beekyaye ate abalala bakikola lwa butamanya kya kwambala n’eng’eri omukyala ali olubuto gy’alina okwambalamu.
Esther Nassaazi atunda engoye z’abakyala ku Kamukamu Plaza akuwa ebika by’engoye abakazi b’embuto abatambula n’omulembe ze basaanye okwambala n’ensonga lwaki.
Agamba nti akaleega k’ayambala tekaawukana na waabulijjo kubanga ebbeere teririna we likwataganira na lubuto. Balina okwambala ebiteeteeyi oba bbulawuzi eza musalankwawa eziyingiza empewo. Abakyala b’embuto batawaanyizibwa nnyo ebbugumu.
Alina okwambala ebintu ebiweweera ku mubiri ng’ate tebimuzitoowerera. Bw’aba ayambadde empale, eteekwa okubaamu lasitiika emuyamba obutasiba mwana oba okumunyiga olubuto.
Kikyamu omukazi ali olubuto okwambala empale ezimukwata ennyo okuggyako ezo ze baakola nga z’abantu abali embuto.
Waliwo n’empale z’oyinza okugenderamu mu ofiisi nga za ssuuti.
Ziteekwa okubaamu lasitiika ng’era eno waggulu ngazi bulungi obutanyiga lubuto. Alina okwambala akawale ak’omunda nga kagazi ekimala ate nga ka ppamba bw’aba ayagala okufuna emirembe.
Funa ebiteeteeyi ebigazi oba mateneti ezikuwa eddembe n’osobola okwetaaya. Engoye zino tezirina kuba mpanvu nnyo kubanga ziyinza okukutega engeri gy’oba omunafu.
Olina n’okwewala okwambala engatto eza kakondo kubanga obeera okozesa amaanyi mangi okutambula nga n’ebinywa byesika nnyo kale kyandibadde kirungi n’ofuna engatto ezisonsekebwamu.