breaking news
Ebifa ku
Allan nkuwadde omutima gwange
  • Oct 14, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Nabuuma

Nze Rose Nabuuma, mbeera Masajja wabula nga nzaalibwa Masaka era gye nava oluvannyuma lwa ssente ezimpeerera okubula.

Bwe natuuka ku kibuga nnafuna mangu omulimu gw’okutunda edduuka nga na kati gwe nkola. Eno ebitaala bya laavu gye binteeredde Mukama bw’ankubye enkata y’olulenzi olukyusizza obulamu bwange.

Ggaayi ono gwe mpaana si mulala wabula ye Allan ammazeeko ennaku n’ennyonta y’omukwano. Ndi wa mukisa kuba Allan ali mu myaka gye nnyini gye nneetaaga kuba nkakasa nga takyalabankana na bawala.

Alina emyaka 38 ate nze nnina 20. Ekiseera kye twakamala, Allan andaze nti ddala ajja kusobola okundabirira n’okumpa omukwano gwonna gwe nneetaaga.

Tupepeya ng’abaagalana era n’abatulaba batandise okututwala ng’abafumbo. Allan tannantwala wuwe era bwe tuba baakulabagana tufuna kifo kirala.

 Embeera eno enteeka ku bunkenke naye mmanyi ajja kuntwalayo. Nkakasa nga kino kikoleddwa tujja kuba bulungi kuba nze Allan namala dda okumukwasa omutima gwange n’okumwewa nzenna.









 

  • Oct 14, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola