Amawanga g’Abazungu bagalogera mu byakuwola nsimbi. Ne bwe muba babbi ng’ensimbi ezibawolebwa okukolamu ebintu ebyokwekulaakulanya, mubba nzibe ne zikulaakulanya embuto zammwe, go amawanga g’Abazungu gasigala gakyettanira okubawola oba okubawa obuyambi “ obwokwekulaakulanya”.
Singa tekubadde kulogerwa mu kuwola nsimbi, ani eyalyongedde okuwola oba okudduukirira Uganda yattu? Nkubuuza, okusinziira ku buziina bw’obubbi bw’abakulembeze baffe, obwayolezebbwa mu masang’aanzira ga Palimenti yaffe, ani eyalizzeeyo okuwola oba okudduukirira Uganda?
Abewola ensimbi zibayambe okukola enguudo oba okuzimba amalwaliro n’okugagulira eddagala, abakulembeze bwe babba ensimbi ezo, enguudo ne zisigala nga ziwomoggose era n’amalwaliro ne gatazimbibwa oba yadde abalwadde okubafunira eddagala, bw’oba tewalogerwa mu kuwola, abo oba okyabawolera ki?
Bubbi bwangeri ki obwo obutalina nsonyi oba yadde ekkomo?
Teebereza minisita gwe bayogerako edda nti abbye ensimbi ezaali ez’okujjanjaba abalwadde ba siriimu, ne bamwogerako okubba eza Chogm, ate era naaba nga y’omu oyo era yayogerwako okulya enguzi y’obuwumbi n’obuwumbi bw’ensimbi z’amafuta agasimibwa e Bunyoro, oyo aba akyalimu bwaminisita ki obumukuumira mu Gavumenti ey’obuvunaanyizibwa?
Mu nsi endala n’ababbi bakwatibwa ku nsonyi. Bwe bawemuukirizibwa, si nsonga oba tebabbye, balekulira bulekulizi ne baddako ku bbali ekyoosi kimale okuyita.
Ebyo eby’awalala si bye byawano. Wano ewaffe oyo gwe bawemuukirizza ayongera bwongezi kwekuniza ne yeesaaanya.
Bw’oba owakana kale mbuulira, abo be bawemukirizza mu Palimenti eyabadde ey’ebbugumu ng’eteesa ku ndagaano n’ensimbi z’amafuta g’e Bunyoro, banaalekulira? Ddi?
Weewaawo amawanga g’Abazungu bwe gawola ensimbi gaziteekamu n’amagoba. Kyokka ensimbi eziwolebbwa bwezibbibwa omubbi talina kyafiirwa, anti omuwi w’omusolo yesasula ebbanja ly’ensimbi ezabbibwa n’amagoba gaazo!
Wo ayi Mzee Zedde nga alabye ennaku. Teebereza Gavumenti okwewola ensimbi zeeyambisibwe mu kukulaakulanya eggwanga, kyokka ensimbi ezo ne zibbibwa bubbibwa kyokka lyo eggwanga ne lisigala nga litubidde mu mabanja g’Abazungu!
So nno nga ye Omuganda agamba nti “Ow’ebbango bwotomuwemukira tewebikka”.
Bw’osula n’owebbango kimanye nti ebbango lye liyinza okukutwalako ekyebikkwa ggwe n’osula mpewo. Ky’olina okukola ow’ebbango muwemukire naawe ekyebikkwa okimusikeko lwonebikka.
Kaabe Pulezidenti oba keebe Palimenti, leka kitegeerekeke bulungi nti ab’ebbango batuuse okuwemukirwa eggwanga lwe lineebikka.
Oba si kyo olumu lyo eggwanga lijja kuwalirizibwa okuwemukira ab’ebbango lyebikke. Sikulimba.
Eggwanga lyewola litya ssente z’okwekulaakulanya ate ne zibbibwa!