ABANTU bangi naddala abavubuka bajjumbidde okwambala empale ennyimpi ‘ebinu’ nga baagala okutambula n’omulembe, okufuna emirembe n’abamu obutayagala kukweka ntumbwe ennungi Mukama ze yabawa.
Kyokka bangi ku bazambala tebamanyi nti empale zino zirina amateeka agazifuga omuntu g’alina okugoberera.
Martin Jjuuko owa Praise Shop ku City Complex yagambye nti empale ennyimpi zambalwa abaana abato abakyali ku ssomero, abavubuka abakola n’abasajja abakuliridde mu myaka.
Jjuuko anyonnyola nti omuntu agenda okwambala empale ennyimpi alina okusooka okwetegereza ekika ky’amagulu ge obutafaanana nga bano Annet Nandujja b’ayimbako. Kiswaza omusajja alina obugulu obutono ng’omulawo okubuteeka mu mpale ennyimpi.
Ebinu tebinyuma kwambala ku nnaku za bulijjo mpozzi ng’oli nneekoleragyange nga tosuubira kusisinkana bantu ba buvunaanyizibwa. Naye bw’oba okola mu ofiisi si kirungi kugendayo ng’okyambadde. Ekinu kinyuma ogenda kulya kaasi ku wiikendi oba okukyala. Bw’okigenderamu mu ofiisi abantu bayinza okukuyisaamu amaaso.
Osobola okukyambala mu biseera by’akawungeezi ng’ovudde mu ofiisi otambulako ku kyalo oba oli awaka n’abantu bo.
Jjuuko yategeezezza nti ekinu ekyambalwa omwana asoma kyawukanira ddala kw’ekyo eky’omuntu omufumbo.
Eky’omuyizi tekirina kusukka maviivi ate eky’omuntu alina obuvunaanyizibwa kirina okuba nga kiyitako ku maviivi okukka wansi.
Ggwe omusajja awedde ku mpagala, wandyewaze nnyo okwambala ekinu n’abaana bo kubanga abakulaba balaba nga ggwe ayagala okwezza obuto.