breaking news
Ssenga
Mwefeeko muleme ‘kukaddiwa’ nga mukyali baana bato
  • Oct 31, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

MUSULA mutya baana bange. Mulina okukimanya nti obufumbo ly’ekkubo mwe tuyita okufuna eggwanga eritebenkedde.
Naye nno, waliwo embeera gye ndaba erabika ng’eyingiridde obufumbo bwammwe eyinza okuleeta obuzibu.

Bawala bange bangi mulemereddwa okulwanyisa obukadde. Omubiri bagugeraageranya ku mutuba.

Gwetaaga okulabirira obulungi okusobola okugukuuma nga muto n’okuguwangaaza olwo osobole okuyoola obubonero okuva mu bantu abakulaba.

Buli lw’ogugayaalirira n’okwesuulirayo ogwa nnaggamba, gukaddiwa mu ngeri eyinza okukusuuza obubonero.

Bw’oyingirira embeera y’obukadde,ng’olwo abantu omuli ne balo batandika okukulabira mu kifaananyi ky’omuntu awedde ku mpagala.

Balo atandika okukulaba ng’atamusaana mu nsonga z’omukwano. Bangi ku bawala bange be ndaba nga bato mu myaka naye nga mu ndabika bakirako ab’emyaka emingi.

Embeera eno yonna eva ku kulemwa kwefaako. Kino kye kiseera okuggula olutalo ku bukadde. Mukole dduyiro ezeetaagisa mu biseera byammwe eby’eddembe.

Muyinza okuddukangamu nga mwetooloola ennyumba zammwe, okubuuka omuguwa oba okusitula obuzito obusaamusaamu.

Mu ngeri endala mwewale okutuula awamu n’okulera engalo. Emirimu girina engeri gye girwanyisaamu omugejjo n’obukadde.

N’okuwummuza omubiri nakyo kyetaagisa. Bangi mukola okuva enjuba lw’evaayo okutuusa lw’egwa. Omuntu atabalirira mubiri gwe yeesanga nga mu kiseera kitono ayenjebuse.

N’okuzaala kwetaaga okuwaamu obudde omubri ne gusobola okusonda amaanyi. Naye bw’oteebalira n’oyingirira embeera y’okuyonsa buli kakadde toyinza ‘butafeedinga’.
     

  • Oct 31, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola