breaking news
Emboozi
Omusumba Mugerwa mu Kampala afudde
  • Nov 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Mugerwa ne Paasita David Kiganda.

Bya BASASI BAFFE

OMUSUMBA John Micheal Mugerwa olumu baamubuuza ebintu bisatu ebimutuusizza ku ttutumu, n’ayanukula nti, “Bayibuli, Eva (mukyala we) n’engoma!”

Bwe yali ayiga okukuba engoma Eng’anda, teyakirowooza nti y’erimulinnyisa ‘ebbaati’ omulundi ogwasookera ddala n’agenda mu Amerika okuyigiriza Abazungu okukuba Baakisimba ne Nankasa.

Okusaba okwasooka nga ‘Bisopu’ Mugerwa aggulawo ekkanisa ye eya Saints Gate Church e Katwe nga January 31, 1984 kwetabwamu abantu babiri bokka, kyokka w’afiiridde ng’okusaba kw’akulembera kujjumbirwa abantu abasukka mu 1,000!
Mu pulogulaamu ye “Omukisa Gw’ekibuga” gy’abadde akola ku LTV, abadde akyogera lunye nti olumu omukisa gukubeera kumpi awo kyokka nga togulaba, n’ogugwe gwali mu ngoma era yamala kutuuka ku makungula n’alyoka azuula nti omwo Katonda mwe yali yagumuterekera.

Mugerwa 50,  yasooka ‘kutoba’ era egimu ku mirimu gye yawangaalirako ennyo gwe gw’okwoza mmotoka gwe yamalamu emyaka 10 be ddu! Eyamusanga mu 1982 ng’akola ogwa ‘Kanaabe’ bw’alaba ebintu by’alese akoze; amaliriza anyeenya mutwe era bw’abeeramu eddiini talema kutendereza maanyi ga Katonda.

Okweziribanga n’emiranga abagoberezi be bye baakubye ng’afiiridde mu kabenje e Kakira ku lw’e Jinja n’omuyambi we Ronnie Ssebunnya kw’ossa Abamerika ababiri Godzich Leos ne Reos kabonero akalaga essuubi lye babadde bamulinamu omuli n’emirimu gy’afudde tamalirizza okuli n’ekkanisa galikwoleka gy’abadde agugumudde e Katwe mu Nkere Zooni.  

Omukisa gw’ekibuga ogwamubbula    

MUGERWA Kampala yamuyingira mu 1977 nga wa myaka 16 ng’ava e Muduuma mu Mpigi gy’azaalwa era gye yasomera pulayimale. Ekimu ku byamuleeta mu kibuga kwe ‘kupangirira’ asobole okukola nga bw’asoma era kino yakigezaako ng’asinziira Nakulabye we yasulanga wabula mu 1981 ng’atuuse mu S.3 n’awanduka mu ssomero ng’ensimbi zimulemeredde ate nga ne kitaawe eyamuyambangako yali amaze okufa mu 1979.

Mu kamu ku butambi mw’attottolera ebyafaayo bye agamba bw’ati:  Nnakola ogw’okwoza emmotoka okuva mu 1981 ne 1991 era nagusangamu obuzibu bungi naddala nga ntandise okukolera Omuyindi eyankozesa ng’akalogoyi kyokka ssaggwaamu maanyi. Olumu yali angobye olw’okunsanga nga mpummuddemu kyokka ne mwegayirira n’ansonyiwa.”
Yalokoka mu 1982, mu 1984 n’asisinkana Omutume Alex Mitala nga kati ono y’akulira ekibiina ekigatta amakanisa g’Abalokole ekya National Fellowship for Born Again Pentecostal Churches.

Mitala bwe yazuula nti Mugerwa alina ‘amafuta’ g’okubuulira enjiri kwe kumuyambako mu kutandika ekkanisa y’ebiwempe e Katwe era wadde okusaba okwasooka kwetabwamu abakyala babiri bokka, Mugerwa teyaterebuka.
Yasookanga kwoza mmotoka e Nsambya, bwe yannyukanga olwo n’agenda ku mirimu gy’okuddukanya ekkanisa e Katwe.

 

  • Nov 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola