
Omukyala ng’asusa ebijanjaalo.
Abantu bangi balowooza nti, okulya ebijanjaalo kiraga bwavu na ndya mbi ne batamanya nti bijjudde ebiriisa era biwonya endwadde omuli n’ez’omutima.
Dr. Farouk Muyingo, owa Mpigi Health Centre alaga ebiriisa n’ebirungo by’osubwa nga tolidde bijanjaalo.
omugaso gw’ebijanjaalo
1 Birimu ekiriisa ekizimba omubiri.
2 Amasavu agalimu tegalina bulabe bwonna ku bulamu.
3 Atawaanyizibwa obulwadde bwa ssukaali ebijanjaalo bisobola bikuyamba okumukkakkanya.
4 Bikendeeza emikisa gy’okufuna kookolo naddala ow’omu byenda.
5 Giziyiza omuntu okufuna puleesa.
6 Biyamba ekyenda ekinene okukola obulungi emirimu gy’akyo kuba mulimu ebiwuziwuzi ebiyamba okutambuza n’okugoyaagoya emmere n’esobola okutambula okubuna mu bitundu byonna eby’omubiri.
7 Ebijanjaalo biyamba ku bantu abakaluubirirwa mu kufuluma kuba bigonza olubuto.
8 Ebijanjaalo ebya langi ate nga bikalu birimu ekiriisa ekiyamba okwoza obutwa mu mubiri n’okufulumya obucaafu.
9 Biyamba okukkakkanya n’okukendeeza ku bubonero obutawaanya ennyo abakyala ababa banaatera okukomya okugenda mu nsonga.
10 Enva z’ebijanjaalo zikendeeza emikisa gy’omuntu okulumbibwa endwadde z’omutima.
11 Birimu ekirungo ekigumya amagumba n’endwadde z’amagumba.