
Omukyala ng’awa omwana omubisi gwa Beetroot.
Beetroot nva ndiirwa omuli ebiriisa okuva ku bikoola okutuuka ku mirandira era y’emu ku mmere eriibwa nga mbisi oba nga nfumbe.
Okugiganyulwamu Dr. Patrick Ssenjobe, ajjanjabisa emmere mu Afri - Natural Clinic e Gayaza annyonnyola emigaso egimulimu.
Okugiganyulwamu lya mubisi.
Emigaso
1 Beetroot alimu eminnyo egizimba n’okugumya amagumba.
2 Ebikoola birimu ekiriisa ekinaaza n’okugogola omuwaatwa omuyita emmere n’omumiro gw’omwana.
3 Ekibala kirimu eminnyo egiwagala n’okukuuma obwongo bw’omwana on’asobola okulowooza amangu n’okukola obulungi mu kibiina.
4 Alimu ebiriisa ebiziyiza endwadde kuba bizimba obutoffaali bw’omubiri ne guba n’abaserikale abamala.
5 Amazzi gaayo gayamba okutebenkeza enkola y’omutima era bw’onyiikira okuwa omwana omubisi oguva mu bikoola n’emirandira gyayo tatawanyizibwa ndwadde za mutima.
6 Ebiwuuziwuuzi ebirimu biyamba okusalasala n’okugonza emmere mu lubuto ekiziyiza okwesiba olubuto n’endwadde eziyinza okuvaamu.
7 Mulimu ebiriisa ebiyamba ensigo okukola obulungi ne zirema kukoowa mangu n’okugoba obukoowu mu mubiri gw’omwana.
8 Mulimu ssukaali ow’ekipimo ayamba okuzzaamu omwana amaanyi ekimusobozesa okuzannya n’okuba omulamu obulungi.
Gisaleesale omwana alye nnamba oba kamulamu omubisi.
Weetegereze bino
Gigatte n’ebibala oba emmere endala ng’enkejje, ebinweebwa, obummonde obuzungu, ffene, amapaapaali, ebikajjo, ennaanansi, wootameroni, amatooke, ebyennyanja n’ebirala.
Gimuliise nga mbisi kuba bw’ogifumba, ebbugumu litta ebiriisa byayo omwana natafunamu.
Kuuma obuyonjo ng’ogiteeke-rateekera omwana aleme okulwala.