breaking news
AsiikaObulamu
Maama alina akawuka asobola okuzaala omwana n’atakamusiiga?
  • Nov 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Omukyala nga yeekebeza omusaayi.

Nnina emyaka 17 ate mukulu wange alina emyaka 18.  Alina akawuka ka siriimu era ali  ku  ddagala okumala kati emyaka 14. Nze nneekebeza emyaka 5 emabega ne bang’amba nti sirina  kawuka.

Kye mbuuza, nnyinza okuba nga ddala ssaafuna kawuka ate nga ffembi maama yatuyonsa okutuusa lwe twawezanga emyaka 2? Saalimah.

Waliwo engeri ssatu maama mw’asobola okusiigira omwana we akawuka ka siriimu. Asobola okukamusiiga ng’akyali mu  lubuto omusaayi ogulimu akawuka bwe guyingira mu kisawo omubeera omwana. 

Era asobola okukamusiiga ng’amuzaala mpozzi ne bw’aba amuyonsa.  

Bwe baba baakukebera ne bakugamba nti tolina kawuka ka siriimu, oyinza okuba nga tokalina. Wabula bw’oba tokakasa byakugambibwa osobola okugenda mu kifo ekirala kye weekakasa ne bakukebera emirundi emirala ne weekakasa embeera y’obulamu bwo.

Kizibu okumanya lwaki muganda wo ye yafuna akawuka ate gwe n’oba nga tewakafuna kyokka anga mwayonka naye nga kibaawo.

 

  • Nov 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola