
Nabawanuka ng''''atema ennyama ku ddyo ye hositeero gy''''azimbye
‘Mu kubaaga ente nzibyemu ebizimbe’
BW’OMUSANGA abaaga ente oba ng’atema ennyama osooka kwekanga ng’olaba omukazi atatya musaayi. Emmambya eba tennasala nga yatuuse dda mu lufula ku luguudo lwa Portbell w’akalkalabiza emirimu gye.
Gwe njogerako ye Hajati Joweria Nabawanuka 52, omutuuze w’e Seeta-Mukono amaze emyaka 26 ng’abaaga n’okutema ennyama. Emyaka gino mu lufula tegifudde ttogge anti by’alagawo byeyogerera. Byonna engeri gy’abikoze abinyumya bwati:
Mu 1974 nayingirira obufumbo ku myaka 18, bwe bwagaana ne ng’amba taata kubanga ye yanfunira omusajja nti, “Taata amaka tegatambula bulungi…’ yanziramu nti, “Mwana wange nange nkiraba naye bw’olaba bigaanyi biveemu okole ebirala…”. Yang’amba mmwegatteko mu kusuubula n’okusala ente omulimu gwe yali akola.
Nnyingira lufula
Nneewola 50,000/- ku mikwano gyange nga mmaze okunoba ne nneegatta ku taata okusuubula ente mu malungu.
Ente twazigulanga Mbarara, Kanoni, Ntuusi, Nakivaale, Bulamba n’awalala era nga tuyita mu bisaka ne mu gasiko okuzinoonya.
Mu 1985 gavumenti yaggala obutale bw’ente e Mbarara ekyatukosa ennyo era wano we nafunira amagezi okutandika okubaaga n’okutunda ennyama mu lufula.
Omwami omu ayitibwa Mubiru yampa amagezi ntandikewo emidaala gyange ebbali w’ekibuga kubanga ebbanga lyonna nalinga ente nzisalira mu ddiiro (luggya lwa lufula) era nga mwe ntundira ennyama.
Nagula ebifo bibiri e Kansanga mu 1991 mwe nassa obutale bw’ennyama era eno ye yali entandikwa y’okulama n’okumera kwange kubanga natandikira ddala okusala n’okutunda ennyama nga mbyenyigiramu butereevu n’okutuusa leero.
Bye nfunye mu kubaaga ente
Mu 2000 nalamaga e Mecca.
Nsobodde okuweerera abaana bataano era nnaakafuna diguli ssatu okuva mu bano. Kino nkyenyumirizaamu kubanga nze saasobola kusoma kutuuka ku diguli.
Nnina obutale bwennyama bubiri e Kansanga mwentundira emu ku nnyama gye nsala.
Nguze ebifo bibiri e Seeta, ekimu nzimbyemu ennyumba mwensula n’emizigo gy’abapangisa ate ekirala nkyakiyiiyiza.
Nazimbira mmange ennyumba e Bwaise kyokka Mukama yamutwala omwaka oguwedde.
Nagula faamu ya mayiro nnamba e Wabusaana kwe nnundira ente 100 n’embuzi ezisoba mu 100.
Poloti omwami wange eyasooka gye yampa e Kireka nagizimbamu amayumba g’abapangisa. Nzimbye ebisulo by’abayizi b’e Kyambogo e Kireka n’ebifo awakolerwa bizinensi. Pulojekiti gye njagala mu kifo kino yaakubaamu amayumba agasoba mu 200.
Poloti gye nnina e Seeta eri ku bugazi bwa 100 ku 120 ntegeka kuzimbamu mayumba ga kalina agapangisibwa.
Nsobodde okuyingizaamu mutabani wange Med Nsubuga naye kati ali mu lufula asala nnyama. Kino kiraga nti omulimu gukyatambulira mu musaayi era mutabani wange naye agwenyumirizaamu.
Hajati Nabawanuka ng'ali munda mu hositeero gy'azimbye.
Okusoomozebwa kwe nsanze
Sisuubira nti mu nsi mulimu omulimu gye balyazaamaanya nga bwe bakola ku nnyama. Ekisooka abeewola batwala ya ssente naye okusasula lutalo.
Obubbi mu bitundu gye tugula ente katono bunnemese omulimu era tekuba kubeera kubuulirira kwa taata singa sikyalimu.
Abasajja abamu bandaba ng’abayingirira mu bizinensi zaabwe kuba nnina bakasitoma bangi.
Obubenje bungi mu kusala ente, zimanyi okuntomera, okwesala ng’osala ennyama oluusi n’ente okugula ng’omanyi nzito kyokka nga kkiro ntono nnyo.
Okwezimba okutuuka wendi si kyangu ng’oli mukazi, olina okulabirira abaana n’okutambuza ebintu ebirala ebiri ku mutwe gwo.