breaking news
Ebirooto
Ebirooto n'amakulu gaabyo
  • Nov 08, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

EBIROOTO

Sarah e Kitubulu Ntebe yaloose ng’eyali bba amuweereza ekitereke nga kirimu ovakendo. 

Kitegeeza omukisa gw’okufuna ekintu ky’obadde tosuubira.

    ***************

Sam e Nabweru yaloose ng’ali ne katikkiro wa Buganda J.B Walusimbi mu mmotoka eyabadde etambula akasoobo.

Kiranga emikisa mu byenfuna yo. Bigendemu mpola ate nga tobizannyiramu.

  *******************

Jack  yaloose ng’ali mu kaboozi n’omuwala eyaliko muganzi we nga bakyali bato. 

Kikulabula okwegendereza n’obuteemalaamu nsa buli lw’obeera n’omwagalwa wo kubanga kyalikuzaalira obulemu eri obulamu bwo. 

********************

Mariam e Bbajjo yaloose nga muliraanwa we omukyala ng’aleese ebya- wongo n’abissa mu luggya lwe. 

Kitegeeza waliwo omuntu omukyamu ateekateeka okukuwakulako oluyombo gwosaana okwerinda.

Nabakooza e Wakiso yaloose ng’ali n’abantu bangi b’atamanyi . Baabadde bakyali awo ne wajjawo bbaasi eyagala okubatomera bonna ne babuna emiwabo. Kiranga olukung’aana olunaabeeramu abantu abangi naye nga lunaggweera mu kasambattuko n’ebisago.

     **********************

Betty e Kisubi yaloose nga kitaawe agulidde mwannyina emmotoka era ng’ali mu kubavugamu.

Kitegeeza nga bw’onootera okubaako n’abagenyi b’okyaza oba ggwe okubaako gy’okyalira mu bbanga eritali lye wala.

      **********************

Ono yaloose nga yeebaza kitaawe ku ssimu olwokumusasulira ebisale by’essomero, kyokka kitaawe yafa era takyasoma.

Kitegeeza ng’enkolagana ennungi gy’olina n’omu ku bantu kitaawo be yakulekera okukulabirira bw’eneetera okukuviiramu ebirungi by’obadde tosuubira.

           *********************

Taaka e Zigoti yaloose ng’agezaako okubuuka omugga omugazi naye n’alemwa. 

Kikuwa amagezi okubeera omwegendereza mu bintu by’okola naye nga weewala obikuggya ku biruubirirwa byo kuba bye bigenda okukutuusa ku kiruubirirwa kyo.

Charles e Ndejje yaloose ng’ayera oluggya.

Kitegeeza nga Katonda bw’anaatera okukumma ekintu ky’obadde oyagala, akuweemu ekirala. Ky’noofuna kyonna ky’oba otwala kubanga omugabi y’omu.

    **********************

L.K e Nakifuma yaloose nga waliwo omuwala amuwa enkoko enzirugavu naye bwe yagikutte yagenze okwetegereza nga njeru. 

Kikuwa amagezi okwesonyiwa omuntu gw’obadde otwala nga mukwano gwo kubanga waabulabe gy’oli. Ate era yongera okwegendereza abantu b’obuulira ebyama byo.

    *******************

Nakiberu e Bombo yaloose ngagudde mu nnyanja naye n’asobola okuwuga n’atuuka ku lukalu. 

Kiranga akabenje ak’oku mazzi oba ak’omu bbanga konootera okuwulira mu nnaku ezitali zewala.

   *******************

Mukasa e Kagoma yaloose nga waliwo omuwala amwegayirira amunogere ku buyembe obuto. Yasobodde okubumunogera obumu n’abuliirawo ate obulala n’abutwala eka. 

Kitegeeza nga bwe wanaatera okubaawo enkyukakyuka mu bulamu bw’omu ku bantu b’olinako akakwate oba omu ku mikwano gyo amaze ekiseera ng’abonaabona.

***********************

J.B e Busega yaloose ng’agenze okukima amazzi e mugga n’asangayo abakazi babiri nga bali munda mu luzzi nga n’ebidomola byabwe biseeyeeya ku mazzi.

Kitegeeza ng’embeera zo bwe zinaatera okukaluba ofune n’ebizibu. Kyalibadde kirungi ne weewummuzaamu ku mirimu gy’okola kati.

   ***********************

Kazibwe e Kakiri yaloose nga nnyina amupangisirizza ennyumba so nga yamusaba dda agimupangisize n’agaana.

Kikulabula obuteemalira mu bintu by’oyagala okukola. Kyalibadde kyamagezi 

okusooka okwebuuza.

    ******************

David e Rakai yaloose ng’abuuka mu bbanga ng’ekinyonyi.

Kikuwa amagezi okuddako eka gye bakuzaala okubaako bye weebuuza ku nsonga z’obujjajja bwo.

    *******************

George e Zziru ku kisinga yaloose ng’akwasizza ebyennyanja ebingi ennyo. 

Kitegeeza ng’ekiseera ky’omaze ng’oteekateeka ebyenfunayo bwe kigenda okukusasulwa kubanga okikoleredde nnyo.

  • Nov 08, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola