breaking news
Emboozi
Amateeka 10 aganaakuyamba okuwangaaza bizinensi yo
  • Nov 09, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Omusuubuzi ng’abudaabuda kasitoma. Naawe yiga enkwata ya kasitoma.

 BYA EDWARD SSERINYA NE HAFSWA NANKANJA

Omwaka 2011 gubadde gwa kasandali mu mbeera y’ebyenfuna. Ng’oggyeeko bbeeyi ya doola okulinnya ennyo, ne bbeeyi y’ebyamaguzi ebisinga epaaluuse bakasitoma ne babyesamba.

Kino kivuddeko bizinensi nnyingi okugwa, abakozi bangi okufiirwa emirimu, kyokka okumala eggobe mu kibya, abakugu mu byenfuna bagamba nti ogwa 2012 gujja kuba kuzibu nnyo. 

Wabula weebuuze nti lwaki abasuubuzi abamu ku kaseera akazibu bizinensi zaabwe zeeyongera kutinta? bayita batya mu kanyigo k’ebyenfuna?yo ng’embeera ekalubye n’etagwa.

Mw. Gordon Wavamunno, nnannyini kkampuni etuusa kuno mmotoka za Benz eya Spear Motors LTD era nnannyini ttiivi ya WBS wamu ne kkampuni y’amazzi eya  Wava Water akuwa amagezi g’okuyisa bizinensi mu kanyigo k’ebyenfuna:

  1. YIGA okukwata obudde. Kimanye nti obudde ze ssente, buli kiseera ekikuyitako nga toganyuddwaamu ziba ssente z’ofiiriddwa. 
  2. OMUNTU ng’ayingirira bizinensi yonna alina okubeera mu yinsuwa, naye ate mu kiseera nga kino eky’akanyigo k’ebyenfuna, yinsuwa tolina kugisuulirira ddala. Kino kiyamba okuzza obugya bizinensi yo singa obeera ogudde mu buzibu bwonna. Osobola okuggulawo bizinensi kyokka bw’otopulaaninga bulungi yeggala yokka, mu kaseera nga kano yinsuwa w’eyambira. 
  3. NGA tonnatandika mulimu gwonna weebuuze kw’abo abakuguse mu bisinensi ez’enjawulo. Tobuguutana kuyingirira bizinensi olw’okuba olabye gundi  agifunyeemu, sooka omwebuuzeeko omanye bukodyo ki bw’akozesa okusobola okuvvuunuka ebizibu kubanga teri bizinensi etaliimu buzibu.
  4. BW'OFUNA ssente ezikola omulimu kyokka nga tonnasalawo mulimu ki, kirungi ssente ezo oziterekeko mu bbanka zizaale ng’eno bw’oyiiya n’okutunuulira awali obunafu mu katale. Obunafu buno ggwe bukozese okusobola okufunamu ekirungi. 
  5. ABANTU baffe beesibye nnyo ku kukopperera emirimu nga tebatawaanye wadde okuteekamu akakodyo akapya. Okugeza wano tulina abantu bangi abatunda amatooke enkota n’amawagule, wabula beerabira nti tulinayo n’abo abatalina budde bwa kuwaata. Singa ovaayo n’otandika okugawaatako ebikuta n’ogatunda ofuna ssente nyingi.
  6. BW'OBA oyagala okwekuumira mu bizinensi, manya bakasitoma bo kye baagala n’engeri y’okubakwatamu. Kino kitwaliramu engeri gy’oyogera nabo maaso ku maaso oba ng’oyita mu bakozi bo. Bw’onyiiza kasitoma omu oba ng’anyiizizza ekkumi kubanga ono ajja kukukubira obulango obukwogerera obubi akukyayise ne mu b’obadde omaze okumatiza.
  7. OBUYONJO nayo mpagi nkulu mu mulimu gwonna. Amaduuka amanene nga supamaketi kino gakikoze era we gagendera okwefuga akatale. Lwaki nzija okugula ennyama gy’owujjako ensowera ng’oli omuyonjo tennamuggwaako? Lwaki nneegulira obulwadde?
  8. BEERA n’obumanyirivu ku mirimu gumu okusooka. Ebbanga bwe liyitawo nga ssente ziweze  olwo obeera waddembe okutandika omulala kyokka ng’era osooka kweebuuza ku bakusingako.
  9. EKISINZE okusuula bisinensi zaffe kwe kwefuula ab’ekisa ennyo. Omuntu atuuka n’okuteeka obulamu bwe mu katyabaga mbu ayamba abalala, tosobola kusanyusa mulala nga ggwe osigadde okaaba. Toba mwebafu!
  10. OMUNTU yandirabiridde n’okuliisa abantu abamuli ku lusegere abasookerwako. “Vva ku by’okuliisa famire nti kubanga oyamba kyalo, bwe weetegereza ennyo abamu ku bano baba bambega ate abalala tebasiima. W’onoofunira ekizibu kyonna bajja kukugeya nga bwe wali weeraga.
  • Nov 09, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola