
Moses Matovu akulira bbandi ya Afrigo ng’akommonta omulere.
OMWAKA guno bbandi ya Afrigo yawezezza emyaka 36 bukya etandikibwawo mu mwaka gwa 1975.
Wano mu Uganda bw’oba weetegerezza, bizinensi ezisinga zigwa nga tezinnaweza myaka etaano ate bwe kituuka ku kkampuni eziriko bannanyini abawera ate ne gujabagira.
N’olwekyo bw’osanga kkampuni oba abantu abasobodde okutambuza ekibiina okumala emyaka egisoba mu 30 oteekwa okubatendereza.
Kkampuni endala emazeewo emyaka egifaananako bwe gityo y’eya Mw. Gordon Wavamunno eya Spear Motors. Wayinza okubaayo n’endala naye si nnyingi.
Naye si kirungi okukoma ku kutendereza, tuteekwa okukitwala ng’ekyokuyigirako kubanga bw’oba ofuddeyo mulimu amasomo agawerako.
Moses Matovu, omu ku baatandikawo bbandi eno era nga ye yagiwa n’erinnya erya Afrigo nga liva mu Africa Go, kye yagambye kitegeeza Afrika genda mu maaso mu by’omuziki, ku Ssande yabadde ku Bukedde Fa Ma kyokka bye yayogedde byabaddemu eby’okuyiga bingi.
Bwe yabadde ayogera ku kibayambye okuwangaaza bandi eno yabawadde ensonga eziwerako omuli:
1. Empisa z’omulimu
2. Omukwano gwe balina mu kye bakola – okuyimba
3. Okuwang’ana ekitiibwa
4. Okussa ekitiibwa mu mulimu
5. Ekitone
Moses Matovu buli lw’ayogera ku biyambye Afrigo okubeerawo assa nnyo essira ku mpisa era agamba nti omuntu yenna okugenda mu maaso ateekwa okuba n’empisa.
Ekigambo mpisa kigazi ddala, kubanga tekikoma ku kubeera muwulize na kussa kitiibwa mu bakulu ne banno wabula n’okukola ekituufu mu ssaawa entuufu nga kuno kw’ogasse n’okussaamu obutetenkanya ku mulimu.
Empisa z’omulimu zitegeeza nti tolinda kukukubiriza kukola kintu wabula weebanja n’okola ekyo ekikusuubirwamu n’okusingawo.
Mu bbandi kino kitegeeza nti weekubiriza okukaza oluyimba lwe muyimba, bw’oba wa kivuga nakyo n’okikaza ate ne weenyigira mu kwegezaamu kwonna okuba kutegekeddwa olwo ne mutuuka okugenda ku siteegi nga mwenna mukwatagana bulungi.
Ebyo bye bifudde Afrigo ttiimu ey’amaanyi n’owulira abantu nga bakugamba nti Oluyimba lwa Afrigo nga bw’oluwulira ku leediyo era bw’oluwulira ku siteegi!
Ekirala ekibaakumidde awamu n’okugenda mu maaso gwe mukwano gwe balina eri ekintu kye bakola.
Okuyimba gye baakutandikira mu butuufu temwali ssente zeeyagaza kyokka nga buli wiiki bateekwa okubeera ku siteegi basanyuse abalaba ate nga nabo bwe beesanyusa kubanga kye bakola kibanyumira. Ekyo bwe kikubula mu mulimu toyinza kuguwangaalamu.
Ekyewuunyisa Moses Matovu ekitone mu kuyimba si kyakulembeza era agamba nti omuntu alina ekitone ekitono kyokka nga munyiikivu era ng’alina empisa asingira wala alina ekitone ekinene kyokka nga mugayaavu ate nga talina mpisa.
Ky’atayogerako nnyo kyokka nga kiyinza okuba nga kye kimu ku bisinze okukuumira awamu Afrigo n’okuyitimuka bwe bukulembeze obulungi .
Ye ng’akulira bbandi okuba ng’amanyi ekiruubirirwa kyayo n’asobola okugikuumira ku mulamwa, kuno kw’ogatta badayirekita baayo abatatera kwogerwako kyokka nabo be ndowooza nti tebatabula nzirukanya ya bbandi nakyo kikulu.
ENGERO Z’ABAGAGGA: Ab’empaka ababiri tebawala luga