Abanoonya Advertise Tweyungeko By'ogamba Etterekero Book Advet contact us Rss Archive
Agakagwawo
Loading
Buganda
Kabaka alaze ekisibye abavubuka mu bwavu
Nov 20, 2011
Kabaka ng’ayogera eri abantu.
  • print
  • mail
  • img

Bya Ali Mambule ne  Lillian Nalubega

LYABADDE ssanyu nga Ssaabasajja alabikako eri Obuganda ku mbuga ya Kaamuswaga mu Ssaza lya Kkooki ku bikujjuko by’okujaguza olunaku lw’abavubuka.

Ng’ayingira Kooki e Ssanje yayaniriziddwa Kaamuswaga Ssansa Kabumbuli II n’abakungu be ku Lwokutaano akawungeezi.

Yatuseeko ku New Hope Primary School, ettendekero lya Rakai Nursing School, Rakai Hospital ettendekero ly’e Byobulimi erya DATIC wamu n’okulambula abantu abakola emirimu egy’enjawulo.

Ku mbuga e Kooki yayaniriziddwa Kaamuswaga ne Katikkiro wa Buganda Ying. J.B.Walusmbi, era ng’omukolo gwetabiddwaako Namasole Zzirimbuga, Maama wa Kaamuswaga, abakungu okuva e Mmengo, ababaka ba Palamenti, Bannaddiini n’abakungu abalala bangi.

Kaamuswaga n’ab’olulyo olubiito baakakasizza Ssaabasajja nga bo ab’omulembe guno bwe batayinza kwetantala n’okweteekako ekikwa okumenyawo endagaano eyakolebwa bajjajjaabwe okwekutula ku Buganda era bwe ne basaba wabeewo ensisinkano ne Kabaka bongere okumukakasa.

Kabaka yasiimye Abakooki olwokumwaniriza obulungi. Kabaka yalabudde abavubuka ku mulabe wa Buganda ow’olulango ‘Obwavu, butamanya n’endwadde’  era ne yeeyama n’akikkaatiriza nti mwetegefu okuteesa n’omuntu yenna aba n’ekigendererwa eky’okutereeza n’okukulaakulanya Buganda.
 


Kamuswaga (akutte omuggo) n’abakungu be e Ssanje  ku kiyitirirwa nga balindirira Kabaka okuyingira mu Kooki.

Kabaka ng’ayanirizibwa Kamuswaga.

Bannaddiini nga basabira omukolo.

Omukulu w’abavubuka ng’akwasa Kabaka ekiwandiiko.

Kabaka (mu tenti y’oku kkono) ne Kamuswaga (ku ddyo)  ku mukolo.\

 

blog comments powered by Disqus
NoImage
Olowooza ekibonerezo ekyaweereddwa yaaya okusibwa emyaka 4 kyamugwanidde?
Ye
Nedda
Simanyi
facebook
Twitter
Also in this section
Copyright © 2012 Bukedde online. All rights reserved Designed by: Noimg Developed by: logo