breaking news
Bukedde Ku Ssande
Ebibala ebya 40,000/- tubikolamu wayini ne tufunamu 250,000/-
  • Nov 30, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Muky. Kamya ng’alaga ennaanansi ezikola ekidomola kya wayini.

Bya Paddy Nsobya 

Bagamba nti okwegatta ge maanyi era ab’e Nabuti bakoze ekibiina ekibagatta ne bafuna obuyambi okuva ku ssente za disitulikiti ez’okwekulaakulanya, ekibayambye okwegobako obwavu nga bayita mu kukola wayini ava mu nnaanansi n’emicungwa.

Akulira ekibiina kino ekya Twegatte Mult-Purpose Initiative, Muky. Robinah Kamya agamba nti ekibiina kino bamaze okukiwandiisa mu mateeka n’okufuna olukusa lw’ekitongole kya Uganda National Bureau of Standards okukola wayini.

Engeri gye bakola wayini
Muky. Kamya agamba:
Pulojekiti eno nagitandika nzekka mu 2009 ne 100,000/- oluvannyuma lw’okusomesebwa ekitongole kya Klezia ekya CARITAS okukola wayini mu nteekateeka yaakyo ey’okulwanyisa obwavu mu maka.

Nga wayise ekiseera nasalwo okwegatta ne bannange tukolere wamu, ate tufune n’obuyambi okuva mu Gavumenti okugula ebyuma eby’okukozesa kuba ssekinnoomu baali tebamuwola.

Twegatta abatuuze 15 ne tukola ekibiina kya Twegatte Mult-Purpose Initiative, disitulikiti n’etuwa ku ssente z’okukulaakulanya ebitundu 2,800,000/- ne tugula obuuma bw’emikono okuli akakamula ennaanansi n’emicungwa, ate n’akasiba obusaanikira ku macupa.

Mu mwezi tusobola okukola ebidomola bya wayini 20 bakasitoma bwe bajjumbira obulungi okugula. Buli kidomola kivaamu eccupa 25 nga buli ccupa emu tugitunda 10,000/-. Ekidomola ekimu tukiggyamu 250,000/-.
Okukamula omubisi ogukola ekidomola kya wayini weetaaga ennaanansi ennene munaana oba entono 13 n’emicungwa 16.
Kuno ogattako kkiro za ssukaali ttaano n’ebirungo ebikuuma omubisi obutayonooneka. Ennaanansi n’emicungwa tubyoza emirundi esatu oluvannyuma ne tususaako ebikuta.

Ze tususizza tuzissa mu kuuma ne tuzikamulamu omubisi ate ebikuta nabyo tetubisuula wabula tubissa mu sseffuliya ne tussaamu liita z’amazzi 15 ne tubifumba ne byesera.

Ebikuta ebifumbiddwa nabyo bivaamu omubisi era bwe byesera tugusengejja ne tutabulamu ne guli ogutafumbiddwa oguteekeddwa okuba nga guwera liita ttaano, ne tutabulamu ne ssukaali n’ebirungo.

Ekyo nga kiwedde tupakira mu kidomola ne tutereka mu sitoowa okumala omwezi mulamba. Omwezi nga guweze, omubisi guno guba gufuuse wayini omuka era tuleeta amacupa ne tutandika okupakira ne tutunda.

Ekizibu eky’amaanyi kye tusanze ensangi zino ye bbeeyi ya ssukaali okulinnya ne yeekubisaamu emirundi ebiri n’omusobyo. Akasawo ke tubadde tusuubula ku  110,000/- kati tukasuubula 250,000/-.

Olw’emiwendo gy’ebintu okwereega akatale kaffe kakendeddemu ennaku zino era tusaba busabi embeera edde mu nteeko.

Wabula okutwalira awamu omulimu si mubi, tusobodde okwefunira omulimu mwe tuggya ensimbi. Kati mpeerera abaana bange n’okulabirira amaka. Tufunye n’emikwano mingi abajja okuyiga n’okulambula enkulaakulana ekibiina kyaffe gye kireeseewo.


  Ziwaateko ebikuta naye nabyo tobisuula kuba bikola wayini.

Wansi Wayini gwe bamaze okukola. Eccupa bagitunda 10,000/-

  • Nov 30, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola