breaking news
Bukedde Ku Ssande
‘Emberenge ze nnasiikanga nga baseka zinfudde binojjo’
  • Dec 07, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Mberenge ng’apaakinga emberenge e Mukono.

Mukono

Bya ROBERT KIGULI

“SIMANYI oba jjajjange okuntuuma erinnya lya Mberenge kyali kya bwannabbi nti lye lirintuusa ku birungi,” bwatyo Pius Mberenge, omusiisi w’emberenge e Ggavu mu ggombolola y’e Kasawo mu Mukono bw’annyonnyola.

Mberenge owa Quality Super Products agamba nti yasooka kukola mirimu egy’enjawulo nga  okukuba amatoffaali, okuvuga bodaboda nga ssente ezivaamu aziteeka mu maduuka kyokka yagenda okwekenneenya nga ssente ze tezizaala magoba.

“Nga mbeera e Namugongo-Ssonde nakuba amatoffaali 10,000 mu 1997 ne nfunamu 550,000/-. E Ssonde nasengukayo ne ntandikawo edduuka e Kigayaaza wabula nagenda okulaba nga ligwa kwe kuddamu okukuba amatoffaali era ssente ze nafuna ne ntandika okusiika emberenge.

We natandikira omulimu guno mu 1999 ebikozesebwa tebyali bya buseere nga kati, naye nga nnina okuwembejja bizinensi n’okugibala obulungi obutafiirwa.

Embiranye ne be tukola nabo ye yangoba e Kabimbiri  ne nzira e Mukono. Ssente bwe zaawera ne ngula poloti e Ggavu.E Mukono kyannyamba okufuna obutale, abasubuuzi ab’amaanyi bangulako emberenge mu bungi ne ngaziya bizinensi.

Ebbeeyi y’ebikozesebwa bw’erinnya olina okwongera obukugu osobole okusigala ng’oweereza.
We natandikira nga kkiro ya kasooli ya 250/=, kati ya 800/-.

Butto ekidomola kyali ku 40,000/-, kati kigula 102,000/- kyokka tusigala tusiba obungi bw’emberenge, bbagiya, ne ssoya bwe bumu wabula tukyusa sayizi y’obuveera mwe tusiba.

Bbagiya ne ssoya okuva mu 2003 lwe nabigatta mu bizinensi bizimbye omulimu gwange obutatambulira ku kyamaguzi kimu. Buli mwezi nsiika ensawo za kasooli 15, eza bbagiya 30 n’eza ssoya 20. Buli mwezi nsobola okukola wakati wa 2,000,000/- ne 2,300,000/- naye amagoba nfuna nga 600,000/-.

Ebikozesebwa biri ku bbeeyi ya waggulu; kati emmotoka y’enku ya 140,000/-, kiro ya ssoya ya 1,600/-. Ku kyuma buli kkiro bagiseesa ku 175/- ate kkiro y’obuwunga bwa muwogo kati ya 1000/-

Nkozesa kkiro z’obuwunga bwa muwogo 100 ne kkiro 50 okukola bbagiya. Soya mugula mu bungi nga bakamungula ne mutereka mu sitoowa yange era mbeera naye mu bungi nga sizoni z’okukungula mu nnimiro ziweddeko

Omulimu guno gunfudde ‘yinvesita’ kubanga nsobodde okugulamu pikipiki 6 ezikola bodaboda era buli lunaku zimpa ssente okugaziya ku nnyingiza yange.

Nzimbyemu amaka agasaanidde n’okuwa ab’oku kitundu emirimu,nguzeemu ettaka kwe nnimira emmere y’okulya n’okuzimba emizigo gye njagala okusuzaamu abakozi

Ekisinze okunyamba kwe kusobola okufefetera  omulimu gwange obutale obw’enjawulo. Nsuubuza e Nakawa, e Kireka ne Mukono kyokka ng’amasomero nago gampagira nnyo. Nkozesa abakozi 10 okuva ku kufumba okutuuka okusiba mu buveera.
 




 
   
 

  • Dec 07, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola