Bw’oba oyagala okutandika bizinensi bweti, olina okwetegereza bino:
Ekifo w’ogitadde kirina okuba nga kituukibwamu mangu buli muntu eyandyetaaze omusenyu n’ebintu ebirala bye mukola-ekifo ekirungi kyandibadde ku kkubo.
Olina okuba n’entambula esobola okutambuza ebintu bya bakasitoma. Ffe wano emmotoka tuzirina, naye bw’oba n’emmotoka emu osobola okutandikirako.
Kirungi okusooka okusoma bizinensi eno n’obeeramu okumala ebbanga nga bw’oyiga bw’etambula. Okusinziira ku bbanga lye mmaze mu mulimu guno nsobola okutunuulira emmotoka y’omusenyu ne mmanya nti bwe ngigula mpitawo ate eyo sigenda kugigula, ejja kuba ensala ate guno omusenyu bakasitoma tebajja kugugula,” Kyambadde bw’agamba.
Wabula Simon Sserubiri, omutissi w’omusenyu mu kifo kino agamba;
Omulimu guno si mwangu, gwetaaga kubala, oyinza okutikka emmotoka ensimbi zo ne zitavaayo. Omusenyu gusinga kutambula nnyo mu nkuba kubanga ku mmotoka guba gugendako mungi ate mu kirombe emmotoka ziba tezigendayo nnyingi olw’obuseerezi.
Okukuuma obwesige ne bakasitoma baffe, kituyambye nnyo kubanga abantu be tusinga okukolagana nabo bakozi mu ofiisi, asinziira eyo n’akugamba nti ntwalira ebintu ku sayiti-birina okutuukayo mu bipimo ebituufu.
Tulina ebintu bingi bye twagala okukola wabula ensimbi zitwekubya mpi; twagala ekyuma ekikuba obutoffaali obulinyibwako, bbulooka 9x9 naye bwe wabaawo ebibiina ebiwozi by’ensimbi, tusaba bitudduukirire.
Bizinensi eno gye twatandika ne 700,000/- ze twagulamu omusenyu gwa pulasita n’ogw’ennyanja, nga n’abantu batusekerera, kati tuwa abavubuka abasukka mu 200 emirimu era bonna basanyufu.
Patrick Bogera omu ku bavubuka abakola mu kifo kino agamba nti olunaku afuna waakiri 50,000/-. “Kapito gwe nnassaamu wa 11,000/- ze nagulamu ekitiiyo,” bw’agamba.
Ye Sserubiri agamba nti olunaku annyuka ne 20,000/-. Emmotoka ya Elfu etikkibwa abantu babiri ku 3000/-, Forward nayo etikkibwa babiri ne bagabana 4000/- ate magulukuumi y’abantu bana ne bagabana 12,000/-
Kyambadde agamba nti bakasitoma baabwe bali mu bitundu bya Kampala ne Wakiso.