
Omuvubuka ng’ayasa amayinja. Tendeka abakozi okukola emirimu, naye goba abatagussaamu kitiibwa.
KampalaWALIWO ebintu ebizibu era ng’abantu abamu tebaagala na kubyogerako, kyokka ate nga bikulu nnyo era ng’anaabireka ebweru tayinza kugaggawala.
Buli muntu ayagala okugaggawala oteekwa okuyiga okutendeka abantu bo, kyokka mu ngeri y’emu oteekwa okuba ng’olina obusobozi obugoba omuntu akuzza emabega.
Oyinza okumpita owettima, naye bw’onookola bye nkugamba oba oli awo olinzijukira. Abakozi ba Uganda baayonooneka era beetaaga omukono ogw’ekyuma!
Kyokka nga tonnaba kukozesa mukono ogw’ekyuma olina okusooka okutendeka omuntu, omunenye nga ddala ekituufu kye yabadde alina okukola wakimulaga.
Kizibu nnyo okufuna omukozi omutuufu, ate toyinza kufuna mukozi atuukiridde kubanga n’avudde mu Yunivasite ng’asomye ekyo kyennyini ekikolebwa mu kkampuni gy’afunye omulimu ate bw’atuukayo asanga ng’alina okusooka okuyiga engeri yennyini kkampuni eyo gy’etambuzaamu emirimu gyayo kubanga eyo tesomesebwa mu ssomero.
Kyokka bw’oba wa kufuna mukozi mulungi waliwo ebintu by’olina okutandikirako ku lunaku lwennyini lw’asooka okukulabako ate otandikirewo okumutendeka.
Nnina munywanyi eyasaba omulimu okukola ku leediyo y’omugagga Kharimu Hirij n’amugamba akeere nnyo mu ofiisi ye era n’amulumiriza nti alina okukeerera ddala kubanga ye musajja mukeeze era n’abakozi be bakeera.
Musajja wange ono enkeera yakeera mu nkeera gye yali alowooza nti akedde nnyo, era agenda okutuuka ku ofiisi ya Kharimu ku ssaawa nga 12 n’ekitundu, yasanga omugagga afulumamu ng’olowo ate ayolekera mirimu gye mirala egitali gya ofiisi.
Yamulagira addemu akeere enkeera era naye kye yakola, zaagenda okuwera 11:00 nga mutaka era omulimu n’agumuwa. Ono yakizuula luvannyuma nti eno y’enkola y’omukulu ono era abakozi bonna ne bamaneja abamu nga bakolera na Ntebe bakeera mu ofiisi eno ku ssaawa ezo ne balyoka bagenda gye bakolera.
Kino kitegeeza nti okuviira ddala ku lunaku olusooka, omukozi ono yakimanya nti ayagala okukola mu kkampuni y’omukulu ono oteekwa okukeera.
Ensonga y’okutendeka abakozi kye kimu ku bintu ebikyatulemesezza okugenda mu maaso ffe nga Bannayuganda. Tetutendeka!
Kyokka bw’omala okutendeka ate olina omukozi okumulaga nti bw’akola ekyejo ajja kugobwa.
TOTYA KUGOBA MUKOZI
Abakozi baffe bangi batandika bulungi kyokka balina omuze gw’okumanyiira omulimu n’okumanyiira bakama baabwe nga batandise okulowooza nti we batali bizinensi egwa.
Bano olina okubanguyira ng’ogoba awatali kulonzalonza omuntu yenna agezaako okuva ku mulamwa n’okwonoona abalala. Omukisa bwe guba gukukutte gobera ddala asinga okulabika ng’ow’omugaso olwo buli mukozi akitegeere nti guno omulimu si gwa kuzannyiramu.
Okunoonyereza kwonna okuzze kukolebwa kulaze nti abakozi ba Uganda bagayaavu, tebassa kitiibwa mu mulimu, era bagenda benjeera ku mirimu ate nga ne bye bakola tebabimanyi.
Kale tendeka nga bw’osobola, buli lunaku yogera gye bali baleme kuva ku mulamwa ate teekawo amateeka amakakali abo abagamenya mu ngeri eyeekyenoonere babonereze ate oluvannyuma obagobe mu ngeri etiisa, buli abadde alowooza nti omulimu gwa kuzannyiramu! Kino buli kkampuni eyitimuse ezze ekikola.
ENGERO Z’ABAGAGGA: Ennungu enkalirize ekisa tewona!