
Ssempijja n’obuugi bw’atembeeya.
KampalaOMUYIMBI Tonny Ssempijja gwe baakazaako erya ‘Looya w’abakyala’ awenjezza ssente mu buli kanyomero.
Amaze ebbanga ng’asiriikiridde kyokka owoolugambo waffe yamuguddeko e Kibuye ng’atembeeya buugi obukola emibiri mu baana abato.
We yamusangidde ng’aliko omusajja gw’amatiza agule. Ssempijja yayatiikirira nnyo ku luyimba lwe yatuuma ‘Looya w’abakyala’.
Yaliko maneja w’omuyimbi Sophie Nantongo era n’abeera ne maneja wa Imbecap Discotheque ekifo ekisanyukirwamu edda ekyayitibwanga Happy Land Theatre e Kibuye.