
Namijumbi ng’ayogera eri abatuuze e Nalubudde .
MityanaBya Luke Kagiri
Abantu abasoba mu 300 okuva ku kyalo Nalubudde ekiri mu Ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti y’e Mityana basattira oluvannyuma lw’abagagga okugula ekyalo kino kyonna, ng’essaawa yonna basengulwa.
Abatuuze ku ttaka lino eriweza yiika 400, bagamba nti ettaka lyatundibwa omu ku b’ekika ky’omugenzi Eridadi Mutabulawo.
Abatuuze balabye bibasobedde kwe kwekubira enduulu ew’omubaka wa Pulezidenti owa Mityana, Kiwanuka Katende, nga baagala abayambe ku nsonga eno.
Baalumirizza ssentebe waabwe ne ssentebe wa Kikonge Nabatu LC1, okwekobaana n’omu ku b’eng’anda z’omugenzi ne batunda ettaka lyabwe.
Baakulembeddwamu munnaabwe Paul Lukoda, kansala ku lukiiko lw’eggombolola y’e Malangala awamu n’omumyuka wa ssentebe wa LC 3, Teopista Lwanyaga.
Omumyuka wa Kiwanuka, Takia Namijumbi naye yabaddewo. Ababaka ba Pulezidenti bano baawadde abatuuze amagezi, ensonga zino bazitwale mu kkooti.