breaking news
Tunuulira
Ebyuma ebibikka abaana abawere
  • Dec 22, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Muky. Kiguba Musoke ng’akebera omwana ali mu kyuma ekibikka abawere e Mulago.

Kampala

Bya E. SSERINNYA, F. KAYONGO NE T. GWEBAYANGA ne mukasa  kivumbi

WALI  otutte akadde n’ogendako mu busenge gye bakuumira abaana abazaaliddwa nga tebannatuuka mu ddwaaliro erikuli okumpi? Bangi abagendayo beewuunya buyonjo, ebyuma ne tekinologiya ayolesebwa, wabula mu malwaliro agasinga mu Uganda, abaana bano bafa lwa bizibu ebiriyo.

Mu malwaliro agamu mu Uganda tekinologiya ow’ekika kino tannaba kutuukayo. Mulimu n’agamu g’olaba amanene n’olisuubira okuba na buli kimu naye byampuna kuba nayo bamukonga lusu!

Leero bwegutuuka ku bulwaliro obutono ekyo kirooto! Ebifo gye bakuliza abaana byakwegendereza, ye ne kamala kakutanda omusawo n’akukwatirayo nga tolina lukusa oba ng’oyingizzaayo engatto, ng’eyakwalula esiridde!

Wadde guli gutyo, naye woodi zino mu malwaliro ag’enjawulo zirina ebizibu byazo ng’ebisinga bisibuka ku balwadde era Bukedde atambuddeko mu malwaliro okuli Lubaga, Mulago ne Jinja era bino by’akujjiddeyo.

Ebyuma ebikuza abaana
Tekinologiya ali mu kifo kino akumala enviiri ku mutwe, mulimu ekyuma ekikolera ku kompyuta ekifumba  omukka gw’obulamu olwo ate ne kigusindika nga kiguyisa mu nseke okutuuka ku mwana okusobola okumuyambako okussa obulungi.


Okugatta ku byuma ebyo, mu kisenge kino mubaamu obuuma obufumba ebbugumu, wabula eryo lyennyini erisaanidde era tekasobola kusussaamu ku bbugumu ne kaleeta erikosa omwana.


Wabula amasannyalaze tegalina kuvaako , era kasita gavaako bwegati e Mulago nga bakoleeza jjenereta era bwe kiri ne mu malwaliro amalala okusobola okukuuma abaana nga balamu, singa tekikolebwa baba balina kufa. Mukyala Kiguba Musoke akola mu Unit eno e Mulago bw’agamba.

Omu ku bakugu mu ddwaaliro e Jinja, Sr Annet Namaganda agamba nti omwana bw’atandika okussa aggyibwa mu kyuma kino n’ ateekebwa mu kabookisi ak’endabirwamu era muno mw’aggyibwa mu biseera ebigere ne bamuwa nnyina amuyonse era okumuggyamu bakozesa nkampa.

Ku ndabirwamu zino kwe kuli ebituli ebyawundibwa n’engoye za ppamba ng’ate munda mulimu obugoye obukoleddwa mu byoya by’endiga obubugumya, ne ku bbali w’akatanda kuliko akuuma akapima ebbugumu.   

Wansi waliwo amataala agaaka nga gabondeera era kompyuta y’egapimira ebbugumu era bweriyitirira eraga akataala akamyufu.   

E Mulago
Dr. Charles Kiggundu, omukugu mu by’abaana n’okuzaalisa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago agamba nti, omwana wakati wa wiiki 37 ne 42 aba atuuse okuzaalibwa .

Omwana azaalibwa ng’awezezza wiiki 28 okutuuka ku 37 oyo asobola okubikkibwa n’akula, kuba aba akyalina ebintu by’enjawulo by’atasobola kwekolera nga okweyonsa ng’ebitundu ebimu eby’omubiri tebinaba kukula.

Omwana ow’ekika kino alina kukuumibwa butiribiri era tekisaanidde kulabibwako bantu n’okumukwatirira kuba asobola okufuna obulwadde. Abazze okukukulisa omwana tebalina ku mulabako era tomubikkula.

Ekivaako abakyala okuzaala abaana abatannatuuka
Dr. Kiggundu agamba, okuzaala omwana nga tanatuuka oyinza okukiyita okuvaamu olubuto kasita aba ng’ali wansi wa wiiki 37, ebimu ku bibaggyamu embuto tebimanyiddwa, ate ebimanyiddwa bye bino:


 

  • Dec 22, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola