Engatto z’omu nnyumba zitangira ebigere okwatika
Jul 15, 2011
Ekimu ku byonoona ebigere ne byatika kwe kubirinnyisa ku seminti oba tayiro. Eno y’ensonga lwaki kiba kirungi n’ogula engatto z’omu nnyumba.
Zikolebwa mu ‘rubber’, ppamba ne wuulu. Bw’ozambala ziweweera munda okusinga ssapatu.
Ekirala obugatto buno butaasa singa amasannyalaze gakukuba ng’oli waka.
  Â