
Omuwala w’entumbwe enyirira.
Buli mukazi ayagala okuba n’amagulu n’entumbwe enyirira. Micheal Ntambi owa Body Essence Gym ku Kampala Road agamba nti buli mukyala asobola okuba n’entumbwe enyirira singa agoberera bino buli lunaku:
Kola dduyiro omusaamusaamu kisobozese ebinywa by’amagulu okwegolola obulungi n’omusaayi okutuuka obulungi mu magulu. Kino kiyamba okuziyiza ebinywa okwekwata oba amagumba okukosebwa. Dduyiro omutonotono gw’osobola okukola mulimu, okuzina, okuwuga, okubuuka omugiwa. Bino oyinza okubikola ku makya n’olweggulo.
Ntambi agamba nti buli lwomala okukola dduyiro ono olina okuwummulamu kisobozese okukkakkanya engeri omutima gye gukubamu n’entunnunsi.
Kola dduyiro ng’ositula ebitundu byo ebyawansi ng’okusitama nga bwoyimuka, weebake kyabugazi owanike amagulu oba okugawanika mu bbanga nga bwe bagasindika obale emirundi 12. Dduyiro ono olina okuba n’omuntu omulala akuyambako ng’omukola.
Bino biyamba okugolola amagulu, obukongovvule, ennyingo, ebigere n’ebinywa byonna ebiri mu magulu okusobola okulabika obulungi.
Oyinza okuddukira ku kasozi, kalinnye nga bw’okkirira okutuusa bw’okoowa. Kikole buli lunaku ku makya n’olweggulo. Kijja kukyamba okukuuma enkula y’amagulu go nga nnungi ne gasigala nga galabika bulungi ate nga bw’osala n’obuzito.
Nnyiikira okunywa ennyo amazzi buli lunaku kuba buli lw’oganywa kiyamba ebinywa by’amagulu okwemiima ekireetera amagulu okulabika obulungi n’okunyirira. Ebinywa bwe birebera ennyama y’oku magulu nayo erebera ne galabika bubi.
Nyiikira okulya obulungi buli lunaku naddala ebibala, enva endiirwa, ebyennyanja, ebinyeebwa,entungo, ebinazi, mukene n’ebirala kuba mulimu amazzi n’omuzigo ebiyamba okunyiriza olususu lw’amagulu, okugumya amagumba okuzimba n’okugumya ebinywa by’amagulu ne galabika obulungi.
Weewale okulya ennyo emmere ensiike, omwenge, ebyokunywa ebikolere, sukaali n’emmere enkolerere endala biyinza okuviirako amagulu go okulabika obubi.
Ntambi akkaatiriza nti buli lw’okola dduyiro ow’amaanyi kakasa nti oyambibwako omukugu kuba dduyiro ow’amaanyi ayinza okukosa amagumba omusaayi okwekwata n’ebinywa okwesiba.
Weewale okutambuza engatto ez’obukondo obuwanvu okumala ebbanga eddene kuba bukakaalukanya ebinywa n’amagumba g’amagulu ekigaleetera okumera obutumbugulu.