breaking news
Tambulan’o
Osobola okwaka wadde teweekubye ‘make- up’
  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

ABAKYALA abamu bakitwala  nti okulabika obulungi oteekeddwa kwemetta ‘make-up’ mungi. Era waliwo nga bw’aba tamwesiize tasobola wadde okufuluma mu kisenge.

Abakugu mu by’ensusu bagamba nti ‘make -up’ ono oluusi alina engeri gy’akosaamu olususu ne lufuna enkanyanya oluusi ekiruleetera okukaddiwa n’okufuma.

Waliwo ebintu omukyala by’asobola okukola ne bw’aba teyeesiize ‘make - up’ n’anyuma.

Fuba okulaba ng’okuuma olususu lwo nga teruliimu nfuufu wadde ekko, era nga si lukalu. Kino okukituukako olina okulunaaba waakiri emirundi ebiri olunaku.

Lusiige ebizigo ebirimu ebirungo ebirukuuma luleme kukala. Kino kijja kugoba enkanyanya lulabike bulungi era nga luto.

Nnyiikira okunywa amazzi agawera. Nywa eggiraasi 8 - 10 buli lunaku. Amazzi gakola nnyo mu kufulumya obutwa bwonna obubeera mu mubiri, ate nga buno bukola kinene okulemesa olususu okulabika obulungi.

Enviiri zo zikuume nga nnyonjo era ozisiigemu ebizigo ebizirabisa obulungi.  Ebizigo bw’oba obisiigamu fuba okulaba ng’osiiga ku ngulu ku nviiri ne wansi ku lususu.  Fuba okulaba ng’ozitwala mu saluuni ne bateekamu tulitimenti ne kondisona, kuba bikola nnyo okunyiriza enviiri.  Enviiri bwe ziba zinyirira, kizibu omuntu obutanyuma.

Bw’oba osanirira enviiri, manya omusono ogukunyumira. Okugeza bw’oba wa ffeesi mpanvu, osobola okusanirira omusono gwa ‘bob’ ogukoma ku kalevu, ojja kunyuma.

Amaaso go galongoose kuba gakola kinene nnyo okukulabisa obulungi oba obubi. Ganaabemu n’amazzi agannyogoga, gajja kuvaamu obukoowu bwonna. 

Ebisige tobisuulirira. Bisale bulungi okusinziira ku nkula yaabyo omwe n’ekyenyi, ojja kwaka wadde teweekubye ‘make - up’. Ebisige bijja kunyirira singa obisiigako ebizigo bitonotono.

Yambala ebiggyayo ffiga yo, ate nga biri ku mulembe. Buli lw’oyambala olugoye oluggyayo ffiga yo, kijja kuba kizibu abakulaba okulowooza nti teweekozeeko kimala. Kuno gattako eby’omu bulago n’eby’oku matu ebigenderako.

 
  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola