breaking news
Tambulan’o
Omubisi gw’enjuki gunyiriza enviiri
  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Enviiri ezinyirira.

OMUBISI gw’enjuki gulina emigaso ntoko era ddagala ku bintu ebitali bimu. Singa ofuna ogutali gwa bicupuli gukola ku bintu bingi omuli n’okunyiriza enviiri ne zitaba nkalu.

Guno osobola okugusiiga mu nviiri gwokka, oba okugugatta n’omubisi gw’enniimu.

Funa omubisi oguteeke mu kikebe. Oluvannyuma gattamu omubisi gw’okamudde mu nniimu, osiige mu nviiri ng’omaze okuzinaabamu bulungi. 

Gulekeemu okumala eddakiika 20, oluvannyuma onaabemu, osiigemu ebizigo.

Omubisi gw’enjuki gulimu ebirungo ebikola ku mirandira gy’enviiri ne zimera bulungi, era we zifulumira nga zirabika bulungi.

Omubisi guno era gutta obuwuka obuyinza okulumba enviiri ne buziremesa okulabika obulungi. 

  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola