breaking news
Emboozi
Manya Amateeka:Omanyi obukulu bw’endagaano ekoleddwa mu kakiiko ka LC?
  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

 Mwattu olukufuumulamu nga nabugi si mufungize, otandika kulowooza nga bwe baakufutyanka era nga bwe baavujjirira omusimbi mu baakola ku musango gwo. Weekotoggera wekka okwebalama obukiiko buno. Bangi bajja ku poliisi nga balaga nga bwe baagula mu butuufu era nti n’abakakiiko bamanyi lwakuba “omugagga” kati yabaguze ne bakyuka. 


Olubabuuza oba abakakiiko kuliko eyassaako omukono gwe ne sitampu y’akakiiko nga bakoteka mitwe ekyoleka obuswavu. Olaba bwe batandika olugendo lw’okufiirwa ebyabwe nga badda okutunuulira ebintu endali?

Kiri mu mateeka okugulira mu bakakiiko? Nedda! Naye kikuwa enkizo singa evaayo emberebezi n’emigozoobano nga bwe mugimanyi mu ttaka okwaboobwe. Tegeera ky’ogula, ani akuguza? Alina obuyinza ku ttaka eryo?Abakakiiko bagamba ki? Ate abantu abakulu ku kitundu bo bagamba ki ku nsonga z’ettaka eryo? Mujjukire olugero lw’Ekiganda olutuwabula ffenna; “Ensowera etebuuza yagenda n’omufu mu ntaana!”

 

 

 

Kozesa LC weewale abafere
Mpuliddeyo bangi abatutegeeza nti n’abamu ku bakakiiko bali ba nguzi. Simanyi oba ddala bituufu naye n’abagirya okubeewala mu buguzi tekikuwonya kugwa mu mannyo ga goonya ez’amagulu abiri era ezitambulira ddala ng’abantu. 

Obukulu mu kyo bwe buno; owakakiiko amanyi nti singa yeegatta mu mivuyo gy’ettaka, luliba olwo ekitimba ne kimuyoola n’avunaanibwa mu mbuga z’amateeka. Kitegeeza nti ajja kwewala emivuyo egyo, akutegeeze ekituufu naawe owone okudda mu mirerembe gy’ettaka egitubobbya emitwe ensangi zino ate nga gikyeyongera singa tetuddamu buntubulamu ng’eggwanga.

Abantu ba leero emyoyo mitono, ensonyi baazinaaba; ababbi b’ettaka bameruka buli lukya, obukodyo bajja na bupya buli lukya, baagala nnyo okukwata abantu baffe obujega nga bakozesa olukujjukujju babatwalire ku misinde egya yiriyiri balyoke babaguze empewo nga tebakoze kunoonyereza kumala. 

Kikuyamba ki okwanguwa ekisusse n’ogwa mu mitego gy’ababbi b’ettaka abacaase ensangi zino? Olugula ettaka eririko enkaayana z’otaalengererawo ebiseera bye wali otaakiriza luli olaba bw’obifiirwa ng’ate n’ettaka okyayinza okulifuuwa mu ng’ombe?

Ensimbi emenya bwetyo okupakasa lwaki efa ttogge olw’okuba wayagala okwebalama aba LC? Eno ye nsonga lwaki okukolera endagaano mu bobukiiko kikulu. Akutemyako oyagala wa mbazzi kukutemera ddala?

 

 

Omuwandiisi ye mulung’amya era omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekikola ku ttaka mu ggwanga
Email: kaemilian05@yahoo.com 

DAVID  Matovu ennyumba ye empya yagisulamu emyezi ebiri gyokka, abantu abataategeerekeka ne bamuteega ng’adda eka ne bamwokya petulooli, n’afiira mu ddwaaliro e Mulago!


Engeri Matovu gye yattibwamu?

  • Oct 02, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola