Faridah Babirye Omusuubuzi e Nakasero: Ku gwe (Jennifer Musisi ) ne loodi meeya Lukwago ani akulira munne?
Omwogezi wa Jennifer Peter Kawujju: Mu mateeka agafuga KCCA amapya, Jennifer Musisi y’akulira buli mulimu gwonna mu Kampala era y’akulira ne Loodi meeya Lukwago. Kino kyeragira mu mirimu egikolebwa ekiseera kino nga gikulirwa Jennifer Musisi.
Godfrey Muyanja: Bamalaaya nga bajamawaza ekibuga nga bamansa obupiira ku nguudo mubategekedde ki?
Kawujju: Bamalaaya tubatwala ng’abantu abalala bonna mu Kampala. Buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukuuma ekibuga nga kiyonjo era asangibwa ng’amenye etteeka avunaanibwa.
John Luswata omusuubuzi ku Arua Park: Lwaki olulimi lwe mwogera ekiseera kino lwa kugoba bantu mu Kampala n’okubakwata ne mubasiba naddala ababadde bakolera ku nguudo ?
KAWUJJU: Ababadde bakolera ku nguudo twabawa obudde obumala okuvaako era bangi baavaako okuggyako abo abataayagala kugondera mateeka . Abaavaako baagenda mu bifo gye twabasindika naddala mu butale, bangi kati bakola bulungi.
Kalid Kiweewa Owa Bodaboda: Lwaki buli lwe tukusaba okukusisinkana tubeeko bye tukugamba tokkiriza, gwe n’olemera ku kya kutugoba mu Kampala?
KAWUJJU:. Tetugaanangako kubasisinkana era ku Lwokutaano nnasisinkana abakulembeze ba bodaboda mu Kampala ne tukkiriziganya muddemu muwandiikibwe, tugenda kutereeza siteegi ate mugenda kulonda obukulembeze obupya. Tetugenda kubagoba kati.
Zayituni Najjuma Omusuubuzi: Jennifer Musisi lwaki musindika abaserikale bammwe abagoba abantu ku nguudo ate ne bayingira ne mu butale okututawaanya?
KAWUJJU:Tetusindika baserikale baffe mu butale era ekyo tetukimanyi. Oba weekiri tugenda kukinoonyerezaako tuzuule obutuufu bwakyo era tugenda kuvaayo n’ekiwandiiko eky’enjawulo
Gabriel Kasigwa: Wagobye abakolera ku nguudo nga tomaze kubategekera gye bagenda ate nga Loodi Meeya yakuwabula n’ogaana lwaki?
KAWUJJU: Kikyamu okugamba nti abantu abo tetwabategekera. Twateekawo ebifo ebikalu 8,000 mu butale obwenjawulo mu Kampala era bangi ku basuubuzi baafuna dda we bakolera. Abatannaba kufuna mukebere mu mawulire mwe twassa ekirango.