breaking news
Emboozi
Ayooyoota ekizimbe bino tobibuusa maaso
  • Oct 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip


Bya Kizito Musoke


ENNYUMBA okubalibwa nti ewedde oteekwa okuba ng’omaze okugikola ‘finisingi’ oba okugiyooyoota ku ngulu ne munda.

Osaanidde okumanya obulungi ebintu ebyeyambisibwa mu kumaliriza ennyumba oleme kwejjusa ng’omaze okusaasaanya ensimbi. Ebintu ebisinga okweyambisibwa mu kumaliriza ennyumba kuliko langi, endabirwamu, amayinja, tayiro, layimu, ‘undercoat’ ayamba okuzibikira obutuli ku bisenge n’oluwawu. Omuzimbi Fred Mwesige ng’akolera mu ‘Mwesige and Kawuma Construction Company’ annyonnyodde engeri omuntu gy’ayinza okweyambisaamu ebintu ebyo okunyiriza enju.

Langi:
Langi ejjira mu bika bibiri ey’amazzi n’amafuta. Ate mu bika bino, waliwo gye bakola ng’egumira obunnyogovu n’eyo egumira ppereketya.

Edda abantu abasinga nga bakozesa ‘bbulaasi’ kyokka olw’okuba erekeramu layini ku kizimbe waliwo ‘loola’ zitundibwa mu maduuka g’ebizimbisibwa okunyiriza ennyumba wandibadde ozigula ne bakozesa ezo. Kyokka bw’oba olina ssente kirungi n’okozesa akuuma ak’amasannyalaze ke kasinga okunyiriza.

Langi okuwangaala kiba kirungi n’osiiga emikono egiwerako esatu oba ena ate era ekisenge kiteekwa okuba nga kiwawuddwa bulungi n’oluwawu okukiggyako obuyinjayinja ate atali akannya ne bassaawo ‘undercoat’.
Ekizibu kya langi, kiri nti abantu bagijingirira wandibadde ogigula ku bakozi abamanyiddwa obulungi.


Zino zitera kusibibwa ku kizimbe kya kalina kyokka n’ennyumba ey’okusulamu osobola okuzikozesa ng’ozissa mu madirisa aga ffuutu ttaano n’ekitundu obuwanvu okutuuka ku ffuuti mwenda oba kkumi obugazi. Oluggi nalwo luteekwa okuva ku ffuuti musanvu obuwanvu ku 14 n’okusingawo.

Endabirwamu ezisibibwa ku bisenge by’ekizimbe za njawulo ku zigenda mu madirisa oba enzigi era ezisinga okukozesebwa wano ziragirizibwa bweru.

Ekirungi ku ndabirwamu zireeta ekitangaala ekimala mu kizimbe. Kyokka ng’omulungi bw’atabulako kamogo, endabirwamu zaatika mangu era omuntu alina abaana abato kyangu okuzaasa nga bakasuka amayinja oba omupiira.

Amayinja:
Eno y’emu ku nzimba erudde era n’okutuusa kati ekyeyambisibwa era nga nnungi ku bizimbe nga wooteeri kuba galabisa bulungi ekizimbe. Amayinja mawangaazi era tegakosebwa mbeera ya budde ate singa ekizimbe kiba awantu awakulukutira ennyo amazzi kyokka gali ku buseere.

Tayiro:
Zeeyambisibwa ku bisenge ebweru ne mu luggya era abantu bazitwala nti ziri ku mulembe. Tayiro zisobola okumala emyaka nga zikyalabika bulungi kasita ozirongoosa. Ziwundibwa mu ngeri ya njawulo ne langi eziwerako. Ekizibu kya tayiro naddala singa zibeera zeeyambisiddwa wansi mu nnyumba, ebika ebimu biseerera era bisobola okukuba abakadde n’abaana abato ebigwo. Kyokka kino tekizigaana kulabisa kizimbe bulungi.

Layimu:
Ono y’asemba okugenda ku kisenge ekimaze okukubwa pulasita n’oluvannyuma langi n’eddako era ekisenge ekikubiddwaako layimu kikekkereza langi n’etagenda nnyingi.

Half-bricks:
Buno bw’osanga omuntu amanyi okubusiba obulungi mu dizayini esikiriza bulabisa bulungi ennyumba. Wabula obutafuma n’enkuba obutabuddugaza, nnannyini kizimbe alina okugula ‘vanish’ ne babusiiga ne bumelemeenya bulungi.

  • Oct 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola