
BANNYINI mayumba bagenda ne basiba tayiro n’obugyo mu luggya n’olaba nga binyumye okuzaama. Kyokka wayita akaseera katono ne bimerako enkonge, ne bikwata amabala ga kalimbwe w’ebinyonyi, ebifutafuta n’ebirala.
Wayita akaseera ng’oluggya olwali lulabika obulungi lwonna lufumye olw’enkonge ne kalimbwe naddala mu biseera bino eby’enkuba.
Tayiro n’obugyo buno bwangu bwa kulongoosa ne buddawo ng’ogula eddagala eribulongoosa mu maduuka. Eddagala libaamu asidi n’eddala eriyamba okuggyamu amabala gonna n’okwokya enkonge eba emeze ku tayiro ne ziddawo okumasamasa.
Kyokka ng’olikozesa weegendereze okussaamu amazzi agamala era n’okukozesa enkampa eng’umu lireme kukwokya ngalo.
Obugyo obukole mu bbumba tebumala gaguba nga obwo obwa seminti oba obw’ebika ebirala.
Ebimu ku bireetera obugyo ne tayiro okuguba mulimu emipiira gya mmotoka, engatto, kalimbwe w’ebinyonyi n’amazzi okuzitonnyako olutata ne zimerako enkonge. Kuno ossaako ebikoola by’emiti ebigwa ku tayiro oba obugyo ne bivundirako n’amazzi agava mu mbaawo.
Bino byonna bw’oba obyegenderezza osobola okuwangaaza obugyo bw’oluggya lwo nga tebugubye.
Bye mugamba
Godfrey Mutebi e Maanyi, Mityana: Endabirwamu si nnungi naddala ku bantu ababeera mu byalo kuba tulina enfuufu nnyingi ate ebyokwerinda byammwe tebiba ggulugulu. Langi y’eba esinga okutukolera naddala bwe muba muyungiza kitono.
Lukia Namagembe e Buddo: Tayiro ze nsinga okwagala kuba zinyiriza enju ate nga nnyangu za kulongoosa. Abantu bye bagamba nti zikuba abakadde n’abaana ebigwo ekyo abazikola baakisalira eddagala kubanga waliwo ezitaseerera era alina abaana ze yandibadde agula
Iga Biriko e Butayunja: Obutofaali bw’obuteeka ku nju ewangaala by’otalabanga, weewaawo abamu bagenda babudibya nti buvudde ku mulembe naye nze bwe nsinga okwagala kubanga tebukulubuka.
Matovu Ntanda w’e Makerere: Ennyumba nnettanira ya ndabirwamu kubanga ekuteeka mu kifo eky’enjawulo ku balala era abantu baba bakuwa ekitiibwa. Kyokka endabirwamu kyangu ababbi okuzaasa ne bakutuukako.