breaking news
Ebyobulimi
Yiga okubaza akatale k’ennyaanya lw’ojja okuzifunamu
  • Oct 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

ABALIMI  abamu batya okulima ennyaanya nga bagamba nti zirina entondo ate zirina okufuuyirwa eddagala kyokka nga lya buseere
.
Wadde bwe kityo bwe kiri, ye Ssaalongo Walakira Nyanzi omutuuze w’e  Nakaukwa okulima ennyanya yakufuula mulimu, era mw’anoga ssente ezimuyimirizzaawo n’amaka ge.

Ennima y’ennyaanya
Okulima ennyaanya olina okuba n’ensigo, zino ziyiwe mu beedi gy’omaze okutegeka. Oluvannyuma lw’omwezi gumu ojja kuba osobola okusimbuliza.

Ogenda okuyiwa beedi, sooka okakase nti wamaze dda okutegeka ennimiro mw’onosimbuliza ennyannya. Eno gasobola okuba amavunike oba ekisaawe naye ng’ettaka lyawo ggonvu, sinakindi osobola okuzirima mu kisenyi ne ku ttaka eririmu oluyinjayinja.

Kirungi okulima ennyaanya mu bifo ebyetadde, kuba okulima mu kibira mubaamu nnyo kiwotokwa.
Bw’oba osimba leka amabanga ga ffuuti emu okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala era kakasa nga buli kinnya osimbamu ennyaanya ezitasukka mu bbiri.

Ng’omaze okusimbuliza, oluvannyuma lw’ennaku munsanvu olwo tandika okufuuyirako eddagala okutangira amatemi. Naye kimanye nti mu biseera by’enkuba nga bino ennyannya zitwala nnyo eddagala.

Okutandika okukoola
Mu mwezi gumu otandika okukoola naye olumu kisinziira ku muddo.

Bw’omala okukoola tandikirawo okubikka,  kuba mu kiseera kino ennyaanya zijja kuba zitandikiriza okukuba amatabi, singa olw’awo okubikka ate amatabi ojja kumenya nga obikka.

Singa ozirabirira bulungi oluvannyuma lw’omwezi gumu n’ekitundu ziba zitandise okuteekako entengo. Ku myezi esatu oba otandise okunoga, kyokka waliwo ebika ebimu by’onogera ku myezi ena.

Wiiki ejja lindirira ebika by’ennyaanya ebikozi bya ssente n’engeri gye bibalamu. Alina ekibuuzo kyonna ku nnyaanya kiweereze ku 0782006608.


 

  • Oct 03, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola