breaking news
Ekisiibo/Ebyobusiraamu
'Omusiraamu acakala ku Kulisimaasi anyiiza Allah'
  • Dec 22, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abakyala Abasiramu nga bali ku mwoleso gwa Tawuhid Islamic Centre e Mengo.

Bya  Fahami Wasswa

OLUNAKU lwa Ssekukkulu olubaawo buli December 25 olukuzibwa okujjukira amazaalibwa ga Yesu (Nabbi Issa) terukkirizibwa mu Busiraamu.

Sheikh Farid omusomesa w'eddiini ku muzigiti gwa Alidina, agamba nti, ekibi ekiri mu kukuza olunaku luno kwe kuzaaza Allah, ate nga mu Kulaani surati Ikraasi, Allah yagamba nti, "Bagambe Allah ali omu, tazaala ate tayazaalibwa." Kati buli lw’okuza Ssekukkulu, oba okkaattiriza nti Allah alina omwana.

Allah yatonda omuntu mu ngeri nnya, yatonda omuntu nga amujja mu ttaka nga  talina nnyina wadde kitaawe oyo ye Adam. N'atonda omuntu ng'amuggya mu lubirizi lw'omusajja (Eva). N'atonda  omuntu ng'amuggya mu mazzi agava ku mugongo, eyo y'engeri  gye twatondebwamu. Era n'atonda omuntu ng'amuggya mu kisaayisaayi era nga talina kitaawe oyo ye Nabbi Issa. Tulina okumanya nti Allah alina obusobozi okulagira ekintu nti kibe ne kiba.

Nabbi Issa ffe Abasiraamu tumumanyi nga mubaka wa Allah, yazaalibwa nga 4 omwezi ogwa Zurihijja (12). Mu Kulaani surati Talimu (66:12) Allah yatuma malayika Jibuliru ewa Mariam n'amufuuwamu omwoyo.

Ate mu surati Mariam, Allah  ayogera engeri Nabbi Isa gye yazaalibwamu. Mariam bwe yawulira obulumi bw’omwana, yawulira eddoboozi nga limulagira okunyeenya ettabi ly’omuti okwava entende, nagyirya. Olwamala okugirya nalumwa era n'azaala.

Ate Sheikh Muhammadi Muraje, omukulu we ttwaale ly'e Wandegeya, agamba nti Omusiramu yeegendreze bino ku Ssekukkulu

Togoberera kyakukuza Kulisimaasi kuba oba onyiiza Allah, togenda mu masanyu gonna agategekeddwa, kola emirimu gyo nga bulijjo bw’okola. Bwe bakuweereza  emmere girye olw’okukuuma omukwano n’oluganda era ne baswahaba baagiryanga.

Abasiraamu kye boogera

Sheikh Muhammadi Mulaje, Mukulu wa twale ly'e Wandgeya: Allah yakireeta bwatyo lwa nsonga nti yayagala kulaga abantu ab'omulembe ogwo nti alagira bulagizi nti kibe ne kiba

Abdalah Kyeswa, Mubulizi wa ngiri mu Islamic call society. Bannange abantu bamanyi amazima naye ate tebaagala kugoogera. Oyinza otya okugamba nti omwana ate ye, taata. Mariam yabeera olubuto nga Allah yalagide kuba alagira bulagizi nti kibe ne kiba.

Noor Namande  oW'e Kawempe. Nze kye ng'amba nti Allah alina bingi by'akola nga biri waggulu w'okutegeera kw'abantu. Singa yali wa kuzaala lwaki teyazaala Adam atalina kitaawe wadde nnyina.

Hajji Yunusu Mukasa, ow'e Nabweru. Allah alina obuyinza obwenjawulo. Kati singa agamba nti beera mulema tosobola kugaana, bwe kityo bwe kyali ne ku Nabbi Issa. Yagamba bugambi nti Mariam abeera olubuto n'alubeera.

 

 

  • Dec 22, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola