Abasooka okusimbulwa:
Lwakataka - Sebuguzi
Susan Muwonge - Semujju
Jas Mangat – Wycliffe Bukenya
Mungyereza – Nasser Mutebi
Godfrey Lubega – Black Widow
Oluvanyuma lw’okumeggebwa ‘Super Lady’ Susan Muwonge, n’amutwaalako engule y’omwaka, Posiano Lwakataka awera nti agenda kwesasuliza mu mpaka ezinaayindira ku Festino Cite e Mukono ku Lwokubiri.
Susan Muwonge yawangula engule y’eggwanga (NRC) ng’asinze Lwakataka obubonero 120. Abavuzi 40 be beewandiisizza okwetaba mu mpaka zino.