breaking news
Emboozi
2011: Omwaka ogw'okwekalakaasa
  • Dec 27, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Ttiyaggaasi ng''''agoya Besigye.

Kampala

 Bya Hafswa Nankanja

TEWALI kubuusabuusa, omwaka 2011 gubadde gwa kwekalakaasa, okuva mu maka g'abantu okutuuka ku nguudo naddala mu bibuga Kampala, Masaka, Jinja ne Mbarara!

Abantu beekalakaasizza olw'amasannyalaze, enguudo embi, omusaala omutono, na buli kasonga k'oyinza okulowoozaako ensangi zino!

Kale tekyewuunyisa omu ku bakazi abalwanirizi b'eddembe ly'abakyala bwe yakunga banne nabo beekalakaase, bamme babbaabwe akaboozi k'obufumbo singa bagaana okubatayirira!

Naye okwekalakaasa okusinze okussa abantu ku bunkenke kwe kwa 'Walk to work', okwajagalaza eggwanga era okwavuddeko omuduumizi wa Poliisi, Maj. Gen. Kale Kayihura okubaga etteeka ly'ategese okwanjulira Palamenti, nga singa abantu beekalakaasa, abaserikale ba poliisi balina eddembe okubakubamu amasasi!

 Olw'okuba emyezi egisooka egy'omwaka 2011 gyali gya kampeyini n'okukuba akalulu, okwekalakaasa kwa 'Walk to work' kwatandika April 11 okutuuka nga April 25.

Ab'ekibiina kya A4C be baakulira okwekalakaasa kuno nga bayambibwako abakulembeze b’ebibiina eby’enjawulo ebivuganya Gavumenti baasalawo okutambuza ebigere okuva awaka okugenda ku mirimu nga bawakanya ebbeeyi y’amafuta n'ey’ebintu ebikozesebwa okulinnya ennyo ssaako embeera embi eri mu malwaliro.

Okwekalakaasa kwakolebwanga buli lwa Mmande n’Olwokuna buli wiiki.

Mu Kampala, okweekalakasa kuno kwasaasanira ebitundu bingi  ekyavaamu akabuga k'e Kasangati Col. Kiiza Besigye gy'asula okufuuka eddwaaniro. Okwekalakaasa kwabuna Gayaza, Kasangati, Ntinda. Wakiso,  Masaka, Jinja, Mukono, Mbarara, Sheema, Isingiro, Bushenyi, Ntungamo, Hoima ne mu disitulikiti y’e Gulu.

Poliisi yakozesa omukka ogubalagala  okugumbulula abeekalaakaasi era abantu abasoba mu 73  be baafuna ebisago. Basatu ku bano baali bayizi ba Safari Kindergarten ery'e Gayaza, 9 baali ba Wampewo Ntakke SS, nga kw’otadde n’omukazi owoolubuto olw’emyezi omusanvu. Abayizi abalala 25 okuva ku ssomero lya Kololo High School baalumziibwa.

Okunoonyereza kulaga nti abantu 4 be baafiira mu kwekalakaasa kuno, 167 baalumizibwa era n’abalala bangi baakwatibwa ne baggalirwa era abamu bakyali mu nkomyo.

Nga April 11,  Pulezidenti wa FDC Kiiza Besigye n’owa DP Norbert Mao baakwatibwa era ne batwalibwa ku kkooti y’e Kasangati ne ku y’oku City Hall ey’omulamuzi Juliet Hatanga lwa kwekalakaasa kuno okwavaako okutaataaganya entambula.

Oluvanyuma baatebwa nga Besigye yeeyimiriddwa ku kakalu ka bukadde 10.

Ayagala okumanya engeri okwekalakaasa kuno gye kwakosaamu abantu, buuza abayizi b’amasomero, erya St. Kizito Bishop Mukwaya Primary School, Kasangati Muslim Primary School n’abalwadde abaali mu ddwaaliro lya St. John Gayaza Health Centre abaakubwamu omukka ogubalagala. 

Olwa April 14 Nobert Mao lw'ategeka okwekalakaasa e Gulu ne Kiiza Besigye lwe baamukuba essasi mu mukono gwe ogwa ddyo poliisi bwe yali egezaako okumukugira okutambuza ebigere mu Kasangati.  Ku olwo poliisi yakwata 100 lwa kwekalakaasa.

Omwana yakubwa amasasi

Ate e Masaka, Julian Nalwanga, omwana ow’emyaka ebiri n'ekitundu yattibwa na masasi poliisi bwe yali erwanagana n’aba bodaboda wamu ne bamakanika ng’ebakugira okwekalakkasa nga batambuza ebigere.

Nga May 17, abakozi b’ewa Kisekka baasalawo okukuba endabirwamu z’emmotoka ne baziba n’amakubo mu kwekalakaasa kwe kumu.

Abasomesa, abasawo n'abasuubuzi beekalakaasa

 

Mu July w'omwaka guno, abasomesa nabo baasalawo okwegatta ku kiwendo ky'okwekalakaasa era olwa July 13, abasomesa bonna abeegattira mu kibiina kya UNATU baasaba Gavumenti ebongeze emisaala basobole nabo okumalako n’embeera y’ebintu eyeekanamye. 

Olwo nga July 20,  abasawo, abasawo abayizi (intern doctors) mu ddwaaliro e Mulago n’amalwaliro amalala okwetooloola eggwanga nabo beekalakaasa olw’okwongezaayo ebbanga ly’okusoma kwabwe.

Ate nga July 27, abasomesa ba pulayimale mu masomero agasinga baddamu okwekalakaasa ne bagaana okulinnya mu bibiina nga baagala Gavumenti ebongeze ku misaala.  Olwa December  6, abasawo b’eddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika nabo beediima olw’abalikulira okugaana okubasasula emisaala gyabwe okumala emyezi ebiri.

Abasomesa b’e Makerere

Nga August 23, abasomesa b’e Makerere beekalakaasa oluvannyuma lwa kkampuni ya yinsuwa eya NIC okulemererwa okubasasula ssente ze baali baterekayo.

Ate nga August 30, n’abayizi baabwe baasalawo okubeegattako bo nno nga bawakanya  eky’abasomesa baabwe okwekalakaasa ne batabasomesa ng'ate basasula buwanana bwa fiizi.

Poliisi yakwata abayizi abamu n'ebaggalira mu kkomera e Wandegeya n’ettendekero lino ne liggalwa. 

N'abasuubuzi beekalakaasa

Okwekalakaasa kw'abasuubuzi olw'amasannyalaze kwatandika  November 23, ku Kampala Road abasuubuzi bwe beekalakaasa mu nguudo ng'eno bwe bayimba ennyimba ezisaba amasannyalaze. 

Ku Lwokubiri nga December 6, abasuubuzi abakolera mu kizimbe kya Qualicel Bus Terminal beegugunga ne bakiggala nga beemulugunya ku nnanyini kyo Drake Lubega okubongeza ssente z’obupangisa.

Olwo ate ku Lwokutaano lwa wiiki y'emu amasasi gaawuuma e Katwe, Nateete ne mu Ndeeba ng'abasuubuzi  beekalakaasa lwa masannyalaze kuvaavaako. 

Mu ngeri y’emu poliisi yeezooba n’abatuuze b’e Wakiso abali bateeseteese okweekalakaasa nga nabo bawakanya eky’obutaba na masannyalaze ebbanga lya mwezi mulamba.

Beekalakaasa lwa nguudo mbi

Ku Lwokuna nga November 3, abatuuze ku byalo  Kamuli, Dambwe, ne Masuuliita mu Wakiso beekalakaasa ne basimba ebitooke, kasooli n’okutema ebikata bya lumonde mu luguudo nga beemulugunya olw'obutalifaako okumala ebbanga ebinnya ne birijjula.

 Ab’e Kawempe- Mbogo n'e Ttula nabo November 22 beegugunga ne bateeka emisanvu mu nguudo nga bawakanya embeera embi ey’enguudo eziyita mu kitundu kino ekiviiriddeko emirimu gyabwe okusannyalala.

 

 

  • Dec 27, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola