breaking news
Bukedde Ku Ssande
Tegeka omwaka mu ngeri ey’ekikugu lw’onoofunamu
  • Dec 28, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Buli lw’oyonoona obudde oba weezimbako bwavu.

Kampala

NJAGALA okukukulisa omwaka kuba kati w’oli ggwo ogumaze! Nkakasa olina by’otuuseeko mu mwaka guno, wadde ng’era nkimanyi nti emirundi mingi osinga kujjukira bizibu n’ebyo ebikulemye okukola. Naye bwe weetegereza ojjja kukizuula nga mu butuufu olina obuwanguzi bw’otuuseeko.

Bulijjo amaaso tolina kugassa ku bikulemye byokka kuba oyinza okuggwaamu amaanyi. Buli buwanguzi bw’otuuuseeko ne bwe buba butono butwale nga bukulu.

Naye mmanyi nti omuntu anaayitimuka tamala gamatira, buli kiseera awulira nti wadde alina w’atuuse kyokka yandibadde akola okusingawo.

N’olwensonga eyo kino kye kiseera okutuula ne weekenneenya enkola gy’okozeemu omwaka oguyise olabe awakulemye, ofube okuzuula lwaki awo wakuzannye.

Emirundi mingi buli lwe tulemwa okukola bye twandikoze mu kifo ky’okwesalira omusango tunoonya mangu omuntu gwe twekwasa. Naye enkola eyo nkyamu era tejja kukutwala mu maaso.

Okusobola okukendeeza ku byekwaso tusobole okutuukiriza kyenkana ebitundu 80 ku buli 100 kw’ebyo bye tuba twagala okukola kiva ku nteekateeka gye tuba tukoze era ng’eno erina okutandikira ku  ssaawa, olunaku, omwezi, emyezi n’omwaka oba kabekasinge emyaka.

Okozesa otya obudde?
Okukyusa enkola yo oteekwa okutandikira ku nkozesa gy’okozesa buli ssaawa mw’ezo 24 eziri mu lunaku. Kijja kuba kizibu nnyo omuntu yenna okuyitimuka ng’akola essaawa ezikka wansi wa 18. Kino kitegeeza nti weebakira essaawa mukaaga mu ssaawa 24. Mu buli ngeri kino si kinene nnyo.

Omukugu mu by’okwekulaakulanya, Robin Sharma,  nga mwattu mwana nzaalwa ya wano wabula nga Amin bwe yagoba Abayindi bbo ne baddukira e Canada, agamba nti omuntu olunaku yandirusazeemu ebitundu bisatu.

Essaawa essatu ezisooka okuva ku ssaawa 11.00 zibe zaakwetegekera lunaku. Nga muno musobola okubaamu okusaba Omutonzi, okukuba dduyiro omubiri gube katebule, okweyonja, okumanya ebiri mu nsi, okulya ekyenkya, n’okutegeka by’onookola mu lunaku era ebimu zigenda okuwera essaawa ebbiri ng’obitandiseeko.

Esssaawa ezo ezisooka nkulu nnyo nti bw’oba omulimu gw’okola nga guleeta abantu bangi, bagenda okutandika okukutuukako nga bingi bye weetaaga okukola, nga totawaanyiziddwa, ojja kuba obimaze.

Agamba nti essaawa essatu eziddako mw’olina okukolera ebintu ebisinga obukulu ku mulimu nti era zino bwe zikufa olunaku oyinza okulubala ng’olufudde kubanga okuva ku mukaaga okweyongerayo ezo essaawa ziba zaakutaataaganyizibwa era muno mwe mujjira n’ekyemisana.

Essaawa ez’olweggulo mw’olina okukolera ebintu ebitali bikulu nnyo kyokka nga nabyo bya mugaso mu bulamu bwo ate olunaku gye luggweera oteekwa okwekenneenya olunaku nga bwe lutambudde  ate n’otegeka by’onookola enkeera.

Jjukira nti bino biyinza okukyuka okusinziira ku kika ky’omulimu gw’okola, naye abasinga emirimu gye tukola gigwa mu kiti ekyo.

ENGERO Z’ABAGAGGA: K’onooweeka tokalinda kusaaba ttaka.

Bino bitwale ku wiiki era ojja kukizuula nti ebisinga olina kubikola nga wiiki etandika, buli ennaku lwe zeeyongerayo oba ogenda mu nnaku ez’okutaataaganyizibwa. Kizibu okusanga omuntu ataddewo olukiiko lw’embaga ku Mmande. Zitera kujja ku nkomerero ya wiiki.

Kigaziye okitwale ku mwezi, ate n’omwaka ogutememu ebitundu bina eby’emyezi esatu esatu era buli esatu lwe giggwaako oddemu weetegereze nga bwe bitambudde. Kino bw’oba tokisobola, ebitundu by’omwaka byesigamye ku nnaku enkulu nga  Paasika, olunaku lw’Abajulizi, olw’ameefuga ne Ssekukkulu.
    

 

  • Dec 28, 2011
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola