
Omusumba Kakooza (ku kkono) ng’abuuza ku bakadde.
Kampala
OMUSUMBA omubeezi mu ssaza ekkulu ery’e Kampala, Christopher Kakooza asiimye ekibiina ky’enkola Enkatoliki ekya St.Vincent De Paul olw’okusakiranga obuyambi eri abankuseere.
Yagambye nti abakulira ebibiina nga bino n’ababiwagira nga badduukirira abateesobola balaga eddiini yaabwe bw’etekoma mu bigambo byokka wabula n’ebikolwa n’asaba abalala okubalabirako.
Bino yabyogeredde mu kifo ekirabirriwamu bakateeyamba e Nalukolongo mu Kampala ku Mmande. Akulira ekibiina kino, Joseph Kimera ye yakoze entegeka abantu abo okuba ne mmisa mwe beebalizza Katonda by’abakoledde omwaka guno n’oluvannyuma n’abagabula ekijjulo.