KampalaOmWAKA 2012 gufuule gwa kuva mu mbeera ya bwomu. Naye waliwo ebintu omuntu yenna anoonya omubeezi by’alina okutunuulira n’okwekkaanya ennyo nga tannasalawo kutandika bufumbo.
Endabika y’omuntu kintu kikulu nnyo mu mukwano. Buli omu yeetaaga omuntu amusanyusa obudde bwonna nga buli lw’amutunulako amumatira ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri. Kya magezi okutwala obudde nga weetegereza omuntu ono. Singa ogenda n’omuntu atakusanyusa, n’omukwano guyinza okudobonkana mu bwangu ennyo.
Empisa. Omuntu ne bw’aba mulungi gwe bayiwako amazzi ne baganywa kyokka nga talina mpisa, obulungi buba bumufudde. Ebboggo, olunkulu, entondo, okwemanya, okwewulira, obunyoomi n’emize emirala mingi gittattana obufumbo era omuntu agirina teyeetaaga kwesembereza .
Enjawulo mu myaka nayo yeetaaga okutunuulira ennyo. Kyamagezi omusajja okusinga ku munne emyaka egiwera.Abakazi bakula mangu okusinga ku basajja era y’ensonga lwaki mulina okukitunuulira.
Ensonga y’eddiini nayo teyeetaaga kubuusa maaso. Eddiiini egatta abantu mu ngeri nnyingi omuli okutendereza awamu. Singa eyawukana, n’abaana bennyini babulwa awatuufu we balaga ekiyinza okuvaako obutakkaanya mu maka.
Ensonga y’amawanga nayo nkulu mu bufumbo. Kirungi n’ofuna omuntu ow’eggwanga lyo bwe mutegeeragana mu mbeera ezisinga obungi. Waliwo obuntu obutono obuyinza okuva ku nsonga eno ne bubatabula.
Famire omuntu mw’ava nayo yeetaaga okwekkaanya ennyo. Waliwo famire enzibu okuwasaamu. Ku ludda lw’abasajja kyetaagisa okuwasa mu famire eneekuwa ekitiibwa.
Obuyigirize bw’omuntu. Embeera eno etera okuleetawo okusika omuguwa, omu ku baagalana n’alowooza nti anyoomebwa lwa mbeera eno. Fuba okulaba ng’omanya obuyigirize bwa munno nga temunnagenda wala. Bw’owulira nga toyinza kukyebeera, muyambe omwongereyo okusoma.