KampalaBENEDICTOKagimu Mugumba Kiwanuka, yazaalibwa May 1922 e Buddu Masaka.
Y’omu ku baakolerera ekibiina kya DP ne kifuuka ekiganzi mu Uganda bwe yatandika okukikulembera mu 1958.
Mu kulonda abakiise b’olukiiko lwa Legico mu March 1961, DP ng’eri wansi wa Kiwanuka yasobola okuwangula UPC ye Obote n’ababaka abangi era Kiwanuka n’afuuka Chief Minister.
Kiwanuka ng’ali mu kifo kino, yakola omulimu munene okulaba ng’eggwanga liva mu mikono gy’Abazungu okusobola okufuna obwetwaze.
Y’omu ku beetaba mu lukiiko lw’e London September 1961, olwavaamu ebibala Uganda okusobola okwefuga.
Kiwanuka yeetaba mu Ssematalo owokubiri n’aweeebwa ekitiibwa kya Sergeant Major. Olutalo nga luwedde, yatandika okukola nga omutaputa mu kkooti ya Uganda enkulu.
Oluvannyuma lw’okusoma ebyamateeka e Bungereza, mu 1956-1959 yatandika okukola omulimu gw’obwalooya naye nga yeekozesa yekka.