
Ono yabadde mu saluuni ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero nga yeebase.
KampalaBya Martin Ndijjo
RED BANTON yayimba si Sijja kuva mu Kampala ngaanyi, eyeeyita ansobola antwale... Kino kye bayita okulemerako, ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.
Naye embeera ekalubye mu Kampala etandise okuwaliriza abasuubuzi okudda mu byalo balime oba mu nkingizzi za Kampala n’abandi okuviira ddala mu bizinensi.
Babadde bakyakaaba kizibu ky’amasannyalaze, n’emisolo egiri waggulu ssaako siringi ebadde enaabuuse ennyo ate kati aba bbanka z’ebyobusuubuzi nabo babatabukidde bwe balinnyisizza amagoba ku ssente ezeewoolebwa ate ng’abasuubuzi abasinga bayimiriddewo ku ‘looni’.
Embeera eno ewalirizza ne bannannyini bizimbe (akeedi) okuli amaduuka okulinnyisa ssente za ‘lenti’ kubanga ssente ze baakozesa okubizimba. Okusobola okuzzaayo ssente abamu basazeewo kulinnyisa ssente za bupangisa ekireese abasuubuzi ababikoleramu okwongera okunyigirizibwa.
Ekisinze okutabula abasuubuzi mu kiseera kino ze bbanka okwongeza amagoba ku ssente enkadde eri abo abeewola edda kyokka nga abadadde tebannaba kuzizzaayo nabo abagenda mu maaso n’okwewola mu kiseera kino era ng’amagoba gaalinnyisibwa ne gatuuka ebitundu 27 ku 100.
Abasuubuzi nga beegattiddwaako bannamakolero ne banneekoleragyange bakyagenda mu maaso n’okuwakanya bbanka z’ebyobusuubuzi okubabinika amagoba n’emisolo gy’ensimbi mu ngeri ey’okubanyigiriza era batadde n’akazito ku gavumenti bwe batiisatiisa okuggala amaduuka ssaako okuggyayo ssente zaabwe zonna mu bbanka kyokka tewali kyamaanyi kikoleddwaawo okukkakkanya embeera eno.
Wabula Mw. Lamin Manjanga akulira ekibiina ekigatta bbanka z’obusuubuzi mu ggwanga ekya (Uganda Bankers Association) agamba nti tebalina kya maanyi kye bayinza kukola ku nsonga ya ssente zino kubanga nabo ebitongole ebibawola ssente omuli ne bbanka enkulu byayongezza amagoba kwe bibawolera.
Wadde nga bino biri bityo, waliwo essuubi nti embeera eno yandirongooka ,olwa Gavana wa bbanka enkulu, Tumusiime Mutebile okusuubiza nga bwe bajja okukendeeza magoba ku ssente eziwolebwa aba bbanka z’ebyobusuubuzi. Singa kino kinaaba kikoleddwa ne bbanka eziwola abasuubuzi zijja kukendeeza amagoba.
Guno si gwe mulundi ogusoose abasuubuzi naddala mu Kampala okuvaayo ne beemulugunya ku mbeera y’okunyigirizibwa. Omwaka oguwedde we guggwereddeko ng’abasuubuzi bagenda mu maaso n’okwekalakaasa olw’amasannyalaze okuvaavaako ate mu July baggalawo amaduuka nga bawakanya emisolo emingi egibabinikibwa ne siringi okunaabuuka.