breaking news
Ono ye kampala
‘Ekikuubo kyagaana kati nkolera ku mmotoka’
  • Jan 11, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Ssenyange

Kampala

Bya Martin Ndijjo

GERALD Ssenyange y’omu ku basuubuzi abagamba nti ssente z’obupangisa zibalemesezza okukolera mu maduuka g’omu Kampala era kati bizinensi yasazeewo kugikolera ku mmotoka. Ssenyange atunda ebintu bya ‘chakalachakala’. Yayogedde bwati;

Ndiko edduuka lye nnali mpangisa mu Kikuubo mu March 2011 kyokka nga nsasula ssente emitwalo 60 buli mwezi ne zinnemerera.

Nnasalawo okwabulira Ekikuubo ne nzira mu kutembeeya wabula waayita ekiseera kitono aba KCCA ne balangirira nga bwe bagobye abatembeeyi mu kibuga.

Oluvannyuma nnasalawo okupangisa mmotoka okuva ku mugagga omu. Mmotoka eno ngipangisa emitwalo 20 buli mwezi era nze ngiguliramu amafuta.

Olw’okuba nti n’emmotoka ezitunda ebintu zaagobwa ku nguudo mu kibuga kati nkola gwa kutambula mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo n’okusingira ddala eyo awabeera obutale bw’omu buulo.

Okuva lwe nnatandika okukolera ku mmotoka nfunyeewo enjawulo kubanga emmaali yange ngitambuza mu bifo ebyenjawulo era gisembeza mu bantu ne bagula obutafaananako nga bwe nnali mu Kikuubo nga nkolera mu kifo kimu.

  • Jan 11, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola