breaking news
Ssenga
Omukwano ogutaliimu birungo gutama
  • Jan 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip


Kampala

BATABANI muli mutya? Mwebale emirimu n’okwagala bawala bange. Eyo gye mpitira nsanga bawala bange nga babeemulugunyako nga bagamba nti laavu yammwe ennaku zino ya mbirigo.

Bwe mutuuka mu buliri muba mwagala kukola kyabatutteyo nga muddukayo gy’obeera nti muli ku kkatala. Batabani, laavu eteriimu mukwano, kiisi, kwekuba buwuna n’okuwaana ku bannammwe tenyumirako ddala. Eyo laavu nkadde era bwe muteegendereze bakazi bammwe bajja kubaddukako banoonya abaana abakyukakyuka n’embeera.

Kye mulina okumanya nti bakyala bammwe bakooye laavu eteriimu birungo.  Mugenda ne mutuuka awaka ne mwefuula siriyaasi, bannammwe ne mubatulugunya, temwagala kunyumya nabo ng’oyinza n’okulowooza nti abeera na muggya we.

Bwe baba bakunyiirizza ku mulimu bikome eyo tobireeta waka. Kyokka bwe mumala okwekola ebyo byonna ate ne mwagala babajjulire oluwombo olunyuvu mu buliri.

Bannange bo laavu banaagiggyawa nga mmwe temugibalaga!  Ono alya n’ono alya y’emmere ewooma. Bwe muba munaanyumya akaboozi olugendo lulina kutandika nga temunnaba na kuyingira kisenge. Bino abasajja bye muwoza nti omukyala y’alina okusooka mu kisenge, tolina kuzannya naye buli kiseera ng’oyagala kweyita bboosi tebiyamba. Bw’oba osazeewo okwagala munno, eby’amaanyi n’ebitiibwa sooka obyeyambule ebintu bijja kubanyumira.

  • Jan 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola