KampalaBya Josephat Sseguya
SARAH Banage kaminsona ku nsonga ezitali zimu mu kitongole ky’ebyemisolo ategeezezza nti kizibu essaawa eno okugatta n’okumanya ssente ekitongole kye zaafiiriddwa.
Yategeezezza nti lipoota ya ssente ezikung’aanyizibwa n’ezisaasaanyizibwa ekolebwa buli mwezi omulundi gumu.
Yagasseeko nti ssente zino zikung’aanyizibwa okuva ku bintu eby’enjawulo ebiyingira eggwanga, ebikolebwa muno n’ebirala.
“Bino toyinza kubigatta n’ofuna mugatte gwabyo mu bujjuvu mu lunaku lumu,” Banage bwe yategeezezza.
Kyokka ensonda mu kitongole ky’ebyemisolo endala zaategeezezza nti bakung’aanya wakati w’obuwumbi munaana ne 10 buli lunaku ekitegeeza bandiba nga baafiiriddwa obuwumbi nga 24 okutuuka ku 30 mu nnaku esatu abasuubuzi ze baamaze nga beediimye.