breaking news
Ebyobulimi
'Nsooka kunoonya katale nga sinnasiga'
  • Jan 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Entangawuzi tezeetaaga kubaamu muddo.

Kampala

Bya Edward Sserinya

BRIG. Gen. Kasirye Ggwanga alima entangawuuzi, naye ekyenjawulo ky'alina ye asooka kunoonya katale n'alyoka azirima. Ensawo yaazo eri wakati wa 150.000/- ne 200.000/-.

Brig. Gen. Kasirye agamba nti bw'oba otegekera obukadde bwo buli kimu okirima naye n'ofuba okunoonya akatale okwawukanako ku balimi abalala. Ffaamu ye eri  Banda-Kisoga mu Kyaggwe.

Entangawuzi zirimu ebika bibiri, waliwo enzungu ezaakazibwako ‘Kibooko’ n’enganda. Kibooko ekirungi ekiziriko zanguwa okukula kuba zo za myezi mukaaga oba musanvu ate Enganda zimala mwaka.

Okufaananako n’ebinzaali Ebiganda, entangawuzi nazo oyinza okuziterekera mu ttaka nga bw'olinda bbeeyi okulinnya. Wabula bwe bituuka mu katale ate enganda zo zibeera ku bbeeyi okusinga enzungu.

Endabirira
Brig. Gen. Kasirye agamba nti, ky’azudde ku ntangawuzi tezikolagana na musana mungi era zaagala nnyo okuzirimira mu bittuluze nga ye bw’akola. Entangawuzi ezirimiddwa mu musana zikala amakoola ate tezigejja.

Simba ng’olekamu amabanga amasaamusaamu g’osobola okuyisaamu enkumbi ey’amannyo (foloko) ng’okoola.

Entangawuzi ezisimbibwa tezirina kwozebwa, kuba enjoze oyinza okuzimenya emitunsi ne zitamera bulungi.

Bwe zimera tandika okukoola, entangawuzi tezikolagana na muddo. Mu yiika ssatu osobola okusimbamu ensawo nga 10, kyokka mu makungula buli nsawo emu osobola okugifunamu endala 10 oba 15, ezo ze za Kibooko. Naye singa oba wasimbye Nganda, ensawo emu osobola okugifunamu ensawo ezisoba mu 20.

Mu nnimiro teekamu ebigimusa bya nnakavundira oba kalimbwe w’enkoko kiyambeko okuzikuza amangu n’okuziwa obugimu.

Weetaaga okuzifuyira n’eddagala eritta obuwuka, kozesa eddagala nga Dythane M45 nga otabuddemu Thiovit, lino liziyambako ku kawuka akazikaza ebikoola.

  • Jan 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola