
Kasirye Ggwanga mu ntangawuzi ze yasimba mu bisiikirize.
KampalaSINGA ebiseera biba bya nkuba, fuuyira buli wiiki kuba enkuba kasita etonnya enaazaako eddagala obuwuka ne buzirumba. Kasita guba nga musana osobola okuyisaawo wiiki bbiri oba ssatu.
Entangawuzi zirina akatale naddala mu Owino n'e Nakasero n’obutale obulala mu Kampala. Abakola ebyokunywa nga bbiya, sooda n’ebirala nabo bazigula okwongera obuka mu byokunywa byabwe.
N'olwekyo bw'oba tonnasimba oba nga waakasiga tandikirawo okunoonya akatale. Mu Uganda entangazuwi zisinga kulimibwa Butambala n'e Bugerere.
Entangawuzi osobola okuzikolamu caayiayamba ennyo abakyala abasesema ku makya, oyinza okukolamu bbiya oba omunaanansi.
Bakolamu amakerenda, oyinza okukolamu emmere y'ebisolo ate ddagala nnyo eri abantu n'ebisolo. N'olwekyo akatale kaazo kanene.