breaking news
Ebyobulimi
Anoonya ssente nyiikirira ebinyeebwa omwaka guno
  • Jan 24, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kasirye Ggwanga mu musiri gwe ogw'ebinyeebwa

Kampala

Bya Edward Sserinnya

EBINYEEBWA ennaku zino birinnye ebbeeyi, kkiro egula wakati wa 3,500/- ne 4,500/-. Ku mulimi abaza kitegeeza ebinyeebwa birimu ennusu. Brig. Gen. Kasirye Ggwanga mu bingi by’alima yagattako n’ebinyeebwa era abirima ku ttaka
lya yiika bbiri.

Brig. Gen. Kasirye abirima ku ffaamu ye eri ku yiika 250 e Banda- Kisoga mu Kyaggwe. Agamba ye alima binyeebwa Biganda ebya nnampekebbiri n’ebinene ebisobola okukulira mu myezi ena gyokka.

Akuwa amagezi ag’okubirima:
Ng’onoosimba ebinyeebwa olina okuba n’ennimiro entegeke. Obutafaananako nga birime birala nga kasooli, ebinyeebwa byagala nnyo ennimiro enjooyoote.

Kino nga kiwedde gera ebiseera eby’enkuba otandike okusima ebinnya, kozesa akakumbi akatono okusobola okuleka amabanga amatono ddala.

Buli kinnya samba empeke emu, tebikolagna na muddo, era kasita olaba omuddo nga gutandise okumeramu kyokka nga tebinnamulisa kimuli, sooka obikooze engalo n’oluvannyuma otemere ng’oziika akamuli.

Kibiyamba okubala ennyo.Bikuumire ddala nga temuli muddo okutuuka okukungula, singa oba obirabiridde bulungi oluvannyuma lw’emyezi ena bijja kuba bikuze ng’okungula.

Bw’oba okungula ebinyeebwa obikuula bukuuzi n’oluvannyuma n’obikongola. Osobola okubitunda nga bibisi oba okusooka okwanika n’otunda bwekiba ng’olina akatale ate bwoba tolina katale genda mu Owino babigula.

Ng’oggyeeko ebinyeebwa Ebiganda, waliwo ebirala ebirongoseemu oba ebyakazibwako ebyembala. Waliwo ekika kya ‘Red Beauty’ nga kino kikulira ennaku 90 zokka.

Ebinyeebwa singa oba osimbye kkiro nga 10, osobola okukungulawo kkiro 100 n’okudda waggulu.
Ekirungi ekiri ku binyeebwa ng’oggyeeko kaamuje, tebitera kulumbibwa biwuka.

Byagala nnyo ettaka eggimu era osobola n’okukozesa ku bigimusa.

  • Jan 24, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola