breaking news
Ebyobulimi
Buli sizoni nfuna 4,000,000/- mu mmwaanyi - Nakibinge
  • Jan 24, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip


Kampala

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

GERALD Nakibinge yamala emyaka 31 ng’ayimiriddewo ku musaala gwa Gavumenti, wabula bukya annyuka mirimu gyayo n’atandika okwekozesa, yeevuma ebbanga eryo lyonna lye ‘yayonoona’.

Kati alima ebintu eby’enjawulo gy’atwala nga bizinensi ye emubeezaawo. Nakibinge emboozi ye aginyumya bwati:

Omusaala gwange ogwasooka ogwa 187/- nnagufunira mu bwakalaani, bwe bankuza ne nfuuka kaasiya nafunanga 505/-. Bwe nnafuuka owaggombolola olwo ne bansasula 23,6000/- .

Nnawummuzibwa mu January wa 2001 nga nfuna 264,000/-. Naye bukya ntandika kulima, omwaka bwe nfuna 3,000,000/- mu magi n’emmwaanyi nziraba ng’okuzannya obuzannyi.

Nnatandika okukolera Gavumenti mu 1970. Amagombolola mwe nnakolera kuliko Kabira- Kyotera ng’omukubi w’empapula,
Ssaza Kalungu nga kaasiya n’obwaggombolola ne mbukolera e Kyamuliibwa, Mukungwe, Bukulula, Lwebitakuli, Lwabenge n’e Malongo gye nnawummulira.

Bwe nnadda ewange ku kyalo Busoga-Kyamuliibwa, nnassimba yiika emu ey’emmwaanyi z’ekika kyaffe kinnansangwa kwe nnatandikira n’oluvannyuma nnazaako yiika endala eya kolono.

Nnagaziya ne yiika endala bbiri ne ziwera nnya kati ezinogwako ate nsimbyeyo yiika endala ento nnya, kuno kwe ngasse obulunzi bw’enkoko n’embizzi era nnassaawo ne nnasale mwe nkuliza endokwa ze ngabirako n’abavubuka.

Nga mmaze okuzuula ekyama ekiri mu mmwaanyi nnatandikawo ekibiina Kyamuliibwa Coffee Farmers Associations ekyakakasibwa mu 2009 , okukunga abantu okunyiikirira ekirime kino.

Kaawefube ono mwagazisa abavubuka naddala abavuzi babodaboda okulaba nga beesibira obugagga obw’ensibo. Kuba
omuntu alina ekitono ebikolo 50 eby’emmwaanyi bw’aba abirabiridde bulungi sizoni emu yokka alabawo enjawulo.

‘Obulimi bukole nga bizinensi’

EKIKOLO kimu osobolaokukiggyako kkro 10 olunoga, bw’okubisaamu ebikolo 50 ze kiro 500.

Kkiro bw’eba ku 1,000/- olwo oba ofunye 500,000/- ate olw’okuba omwaka gubaamu sizoni bbiri olwo oba ofunye akakadde ka ssente ate nga totaddeemu nnyo.

Nze ewange mu sizoni emu nkungula kkiro 4,000 olunoga; bw’okubisaamu1,000, bwe bukadde buna olunoga.

Awasinga nze nnennyigiramu ne famire yange, ebigimusa mbiggya mu kalimbwe w’enkoko nga kati ntaddewo ne ka ffaamu k’ente.

Mu mmwanyi ate tuzudde nti osobola bulungi okusimbamu ebitooke by’olumaggamagga okwanguyiza mu kuzirabirira n’otazirekaamu muddo. Kikuyamba n’okufuna emmere y’awaka mu ngeri y’emu ng’osobola okufissaako gy’otunda.

Nze kati sikyejjusa kukaddiyizibwa ku mulimo kubanga n’entambula nguzeemu ennyanguyiza mu bulimi n’obulunzi bwange.

Bw’oba omukozi wa Gavumenti, yiika bbiri ez’emmwaanyi zisobola okukumazaako n’otojulira kutolotoomera baasaze myaka gy’abakozi egy’okuwummula okugizza ku 50.

  • Jan 24, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola