KampalaBya MUMANSA
ABAZUNGU baatuwa okwefuga nga basuubira nti okwefuga kujja kutulemerera tudde mu kutting’ana n’oluvannyuma tubayite bakomewo baddemu okutufuga.
Newankubadde Uganda egenda kuweza emyaka 50 nga yeefuga, kyokka wakyaliwo Abazungu abakyalina essuubi nti ekiseera kyonna okwefuga kuyinza okutulemerera tudde mu kutting’aana.
Abakulembeze bwe bazzeemu okukaalakaala n’emmundu mu bantu era ne batta n’abantu mu ngeri ey’ekifamukoko, olwo ne bongera okukakasa Abazungu nti okwefuga kujja kutulemerera.
Omukungu wa Gavumenti George Agaba, omu ku abo abaakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuddukanya emirimu gy’ekibuga Kampala (KCCA) kigambibwa nti ku Ssande eyise yagenze n’emmundu n’alagira basajja be ne bazitokoseza mu bantu b’e Luzira era ne babattamu abantu babiri n’abalala bangi ne basigala ku bisago.
Omukungu Agaba agamba nti yabadde ku mirimu gye emitongole egy’okumenya amayumba agaazimbibwa mu bifo ebikyamu.
Eyo gye yasanze abantu abamulaajanira aleme kubamenyera mayumba gaabwe nga tebaweereddwa kiseera kibamala
okunoonyezaamu gye banaasengukira, era abo be baawandagaziddwaamu amasasi.
Mu biseera by’obufuzi bwa Idi Amin, abakungu mwe baakubirizibwanga obuteerabira mmundu zaabwe nga bagenda okukola
emirimu mu bantu. Era abakungu baakuutirwanga okukozesa emmundu ezo, nga bakubira ddala ku nnyama nga wabaddewo
abeemulugunya ku ebyo bye baalinga
bakola.
Enjawulo ennene eriwo wakati w’obufuzi bwa Idi Amin na buno obuliwo kati y’ey’okuba nti obufuzi bwa Museveni mwe tuwerezza n’emyaka 50 bukya twefuga, bwo bwajjirira kuggyawo bikolwa eby’ekivandulo abakungu mwe beeyambisiza emmundu okugyoonyesa abantu.
Kyalangirirwa mu lwatu nti obufuzi bwa Muvumenti bwajjirira kuzzaawo nfuga etambulira ku mateeka. Naye poliisi egamba nti ebikolwa ebyakoleddwa e Luzira byabadde mbimenya mateeka, kubanga omukungu wa KCCA George Agaba poliisi teyagitegeezezzaako ku mirimu gye yabadde agenda okukola e Luzira wabula yagiyise kutegula mirambo gy’abo abatirimbuddwa.
Abantu okutirimbulwa mu ngeri eyo ey’obumenyi bw’amateeka era ng’ekyo kiduumirwa abakungu abaalifuddeyo okulaba ng’obufuzi obw’amateeka bukuumibwa, ekyo nakyo ku bwakyo kiraga kulemererwa kwefuga.
Era awo Ddwaddwaddwa Mumansa w’akikinalira n’abuuza nti lwaki ba Agaba balekeddwaawo okweyambisa emmundu badobonkanye okwefuga kwa Uganda?