
Suzan Muwonge wakati, Annet Negesa ne Godfrey Nuwagaba eyakiikiridde Moses Kipsiro
KampalaBya HAMID KALANZI
ESSANYU lyayitiridde ku Susan ‘Super Lady’ Muwonge, omumyuka wa pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi, bwe yamulangiridde ku buzannyi bw’omwaka oguwedde (2011).
Muwonge, kyampiyoni wa mmotoka z’empaka mu ggwanga, yamezze abaddusi Annette Negesa, Moses Kipsiro ne Edwin Ekiring (badminton) n’asitukira mu ngule eyassibwawo ekibiina ky’abaamawulire abasaka ag’emizannyo.
Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano ku wooteri ya Golf mu Kampala nga gwasasuliddwa kkampuni ya Nile Breweries.
Muwonge, eyabadde anekedde mu kiteeteeyi ekiraga omugongo, yasoose kulemererwa kwogera nga amaziga gamuyitamu, n’atumya akatambaala okuva eri bba Lawrence Muwonge. Oluvannyuma yagumye n’ategeeza nti, “Essaala ze nsabye sizimanyi muwendo ntuuke ku ngule eno kuba mu mu 2007 nakoma ku njokye.”
‘Super Lady’ yaddiriddwa Negesa (yabaddewo), Kipsiro ne Ekiring ne bagoberera naye bo tebaabaddewo.
Sekandi yasabye abantu bakoppe USPA esiima abazannyi mu kifo ky’abakulembeze baagyo be yagambye nti bali mu kulwana ntalo.