KampalaEdward Sserinnya
Yiika oyinza okugifunamu 3,500,000/- buli sizoni - Kasirye Ggwanga
BBEEYI y’emmwaanyi yeeyongeddde okulinnya, kati kkiro ya kibooko egula wakati wa 2,000/- ne 2,200/-, eya kase eri wakati wa 4000/- ne 5,500/-.
Sizoni emu bw’oba wasimba yiika osobola okufunamu ensawo enkalu eza kkiro 70 eziri wakati wa 25 ne 30. Kwe kugamba nti
ofunamu ssente eziri wakati wa 3,500,000/- ne 4,200,000/-.
N’olwekyo emmwaanyi ekyafuna wadde akawuka akakaza emisiri gyazo kakyaliwo. Brig. Gen. Kasirye Ggwanga agamba nti bw’oba onoogaggawala beera n’emmere ekumala awaka ate simba emmwanyi.
Akubiriza buli muntu alina ekibanja ekigaziko okusimba Emmwaanyi zikyafuna Yiika oyinza okugifunamu 3,500,000/- buli sizoni - Kasirye Ggwanga emmwaanyi kuba zikyalimu ssente nnyingi. “Simba yiika y’emmwaanyi, mu myaka ebiri ojja kuba mu ssente,” bw’agamba.
Agamba nti emmwaanyi Eng’anda ze zirimu ssente, si nzibu kulabirira ate tezikaddiwa mangu. Agamba:
SIMA EBINNYA BIGAZI
Emmwaanyi terina ntondo, ne bw’oba tokabadde naye kasita osaawa w’ogenda okuzisimba era zidda. Naye sima ebinnya
nga bigazi, ffuuti ssatu ku ssatu.
Nze nga sinnasimba ndokwa ekinnya nkissaamu obusa oba nnakavundira. Obusa bwe buba bukyayokya, mbubikka okumala omwezi nga gumu oba n’okusingawo olwo ne ndyoka nsimbamu emmwaanyi,” Kasirye Ggwanga bw’agamba.
Ayongerako: Jjukira okufumita omuti wakati mu kinnya, kuba bw’otuuka okusimba w’osimbula omuti w’oteeka endokwa y’emmwaanyi. Wabula singa ebigimusa biba byawola dda, osobola okusimbirawo.
Endokwa z’emmwaanyi kati zigula wakati wa 300/- ne 500/- okusinziira ku muntu gw’oba oguzeeko. N’olwekyo buli alina
ettaka oba ekibanja simba waakiri yiika emu oba kitundu kyayo.
YIWA NNASSALE
Waliwo n’enkola endala ey’okweyiira nassale, ddira emmwaanyi ezengedde ozisekule mu kinu ng’ekigendererwa kuzigyako bikuta.
Zaanikeko emisana ng’esatu, oluvannyuma oziyiwe mu beedi, eno olina okuba nga wagitegeka dda mu kifo ekirimu ekittuluze. W’ogenda okuyiwa beedi kabalawo era oyanjale bulungi.
Osobola okuyiwa mu layini oba okumansa, bw’oba oyiwa ensigo, kakasa ng’oyiwako ettaka ttono, kuba bw’oyiwako eringi zijja kulemesa obusigo okumera. Bw’omala okuyiwa, bikkako ebisubi.
Kasita wayita wiiki emu oba bbiri buba butandise okumera, bubikkule ozimbeko akayumba. Mu kayumba lekamu emyagaanya omuyita amazzi n’omusana busobole okukula obulungi.
Bwe ziweza ebikoola 6 tandika okuziteeka mu buveera. Bwe biwera 12 olwo osobola okusimbuliza. Oluvannyuma
lw’omwaka gumu zijja kuba zitandise okubala, okufaananako ng’ebirime ebirala n’emmwaanyi tezaagala muddo.